Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ennyanjula yʼEkitundu 11

Ennyanjula yʼEkitundu 11

Ekitundu kino kyanjula Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani. Yesu yazaalibwa mu maka maavu, era baali babeera mu kabuga ka Isirayiri akatono. Kitaawe yali mubazzi era Yesu yakolanga naye. Yesu ye yali agenda okununula abantu. Yakuwa yalonda Yesu okuba Kabaka w’Obwakabaka obw’omu ggulu. Bw’oba ng’oli muzadde, yamba omwana wo okulaba engeri Yakuwa gye yayolekamu amagezi ng’alonda amaka Yesu mwe yandizaaliddwa n’embeera mwe yandikulidde. Muyambe okulaba engeri Yakuwa gye yakuumamu Yesu n’atattibwa Kerode, n’obukakafu obulaga nti tewali kisobola okulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Mulabe engeri Yakuwa gye yakwasaamu Yokaana obuvunaanyizibwa obw’okuteekerateekera Yesu ekkubo. Era  mulabe engeri Yesu gye yakiraga okuviira ddala mu buto nti yali ayagala nnyo okukolera ku magezi agava eri Yakuwa.

MU KITUNDU KINO

Erizabeesi Azaala Omwana

Lwaki omwami wa Erizabeesi yagambibwa nti yali tagenda kuddamu kwogera okutuusa ng’omwana azaaliddwa?

Gabulyeri Alabikira Maliyamu

Yamuleetera obubaka obwakyusa obulamu bwe.

Bamalayika Balangirira Okuzaalibwa kwa Yesu

Abasumba bwe baawulira obubaka obwo baasitukiramu.

Yakuwa Yakuuma Yesu

Kabaka omubi yali ayagala okutta Yesu.

Yesu ng’Akyali Muto

Yesu yeewuunyisa atya abayigiriza ku yeekaalu?

Yokaana Ategekera Yesu Ekkubo

Yokaana yafuuka nnabbi. Yagambanga abantu nti Masiya yali agenda kujja. Abantu bakola ki nga bawulidde obubaka obwo?