Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ekitabo Kyange eky'Engero za Bayibuli

Olugero 112: Eryato Limenyekera ku Kizinga

Olugero 112: Eryato Limenyekera ku Kizinga

LABA! eryato liri mu kabi! Limenyekamenyeka! Olaba abantu abali mu mazzi? Abamu batuuse ku lukalu. Oyo ali awo ye Pawulo? Ka tulabe ebimutuuseeko.

Abaawonawo ng’eryato limenyesemenyese

Jjukira nti okumala emyaka ebiri Pawulo abadde asibiddwa mu kkomera ly’e Kayisaliya. Awo ye n’abasibe abamu ne bateekebwa ku lyato, ne boolekera Rooma. Nga bayita okumpi n’ekizinga ky’e Kuleete, wajjawo embuyaga ey’amaanyi. Ya maanyi nnyo abasajja ne balemererwa okutereeza eryato. Era tebakyasobola kulaba njuba emisana oba emmunyeenye ekiro. Mu nkomerero, oluvannyuma lw’ennaku nnyingi, abali mu lyato baggwaamu essuubi ery’okuwonawo.

Awo Pawulo n’ayimirira n’abagamba: ‘Tewali n’omu ku mmwe ajja kufiirwa obulamu bwe; eryato lyokka lye lijja okusaanawo. Ekiro ekyayise malayika wa Katonda yazze gye ndi n’aŋŋamba, “Totya, Pawulo! Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali omufuzi Omuruumi. Era Katonda ajja kuwonya abo bonna abali naawe.”’

Awo nga mu ttumbi ku lunaku 14 okuva embuyaga bwe yatandika, abalunnyanja balaba nti amazzi tegakyali mawanvu nnyo! Olw’okutya okutomera enjazi mu kizikiza, basuula ennanga. Enkeera balaba olukalu. Basalawo okuleeta eryato ku lukalu.

Bwe basemberera olukalu, eryato litubira mu musenyu. Awo amayengo ne gatandika okulikuba, era eryato litandika okumenyekamenyeka. Omukungu ow’amagye agamba: ‘Mwenna abasobola okuwuga mmwe muba musooka okwesuula mu nnyanja muwuge mutuuke ku lukalu. N’abalala nammwe mugoberere, era mwekwate ku bitundutundu ebimenyese ku lyato.’ Era ekyo kye bakola. Mu ngeri eno abantu bonna 276 abaali ku lyato batuuka bulungi ku lukalu, nga malayika bwe yasuubiza.

Ekizinga kiyitibwa Merita. Abantu baayo ba kisa nnyo, era balabirira bulungi abo ababadde ku lyato. Obudde bwe bulongooka, Pawulo ateekebwa ku lyato eddala n’atwalibwa e Rooma.

Ebikolwa 27:1-44; 28:1-14.



Ebibuuzo

  • Kiki ekituuka ku lyato Pawulo lyaliko nga liyita okumpi n’ekizinga kuleete?
  • Kiki Pawulo ky’agamba abo abali ku lyato?
  • Eryato limenyekamenyekamu litya?
  • Kiragiro ki omukungu ow’amagye ky’awa, era abantu bameka abatuuka obulungi ku lukalu?
  • Ekizinga kye baagoberako bakiyita batya, era kiki kye bakolera Pawulo ng’obudde bumaze okulongooka?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Ebikolwa 27:1-44.

    Obwesige bwe tulina mu Baibuli bunywezebwa butya bwe tusoma ku lugendo lwa Pawulo olw’e Rooma? (Bik. 27:16-19, 27-32; Luk. 1:3; 2 Tim. 3:16, 17)

  • Soma Ebikolwa 28:1-14.

    Bwe kiba nti abantu b’omu Merita abaali tebamanyi Katonda baayisa omutume Pawulo ne banne be yali nabo ku lyato eryamenyeka mu ‘ngeri ennungi ennyo,’ Abakristaayo bandikubiriziddwa kukola ki era naddala mu ngeri ki? (Bik. 28:1, 2; Beb. 13:1,2; 1 Peet. 4:9)