Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olugero 87: Yesu Omuto mu Yeekaalu

Olugero 87: Yesu Omuto mu Yeekaalu

LABA omulenzi ono omuto ayogera n’abasajja bano abakulu. Be bayigiriza b’omu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi. Era omulenzi oyo ye Yesu. Yeeyongedde okukula. Kati aweza emyaka 12.

Abayigiriza beewuunyizza nnyo nti Yesu amanyi bingi nnyo ebikwata ku Katonda n’ebintu ebiri mu Baibuli. Naye lwaki Yusufu ne Malyamu tebali wano? Bali ludda wa? Ka tulabe.

Yesu omuto ng’ayogera n’abayigiriza

Buli mwaka Yusufu aleeta ab’omu maka ge e Yerusaalemi ku mukola ogw’enjawulo oguyitibwa Okuyitako. Lugendo luwanvu okuva e Nazaaleesi okutuuka e Yerusaalemi. Tewali n’omu alina mmotoka, era tewaliiwo ggaali za muka. Tebyaliwo mu kiseera ekyo. Abantu abasinga obungi batambuza bigere, era kibatwalira ennaku nga ssatu okutuuka e Yerusaalemi.

Naye kati Yusufu alina amaka manene. Bwe kityo waliwo bato ba Yesu abalala ab’okulabirira. Omwaka guno, Yusufu ne Malyamu n’abaana baabwe batambula olugendo oluwanvu okuddayo ewaabwe e Nazaaleesi. Balowooza nti Yesu ali wamu n’abalala ku lugendo. Naye bwe bawummulamu ku nkomerero y’olunaku, Yesu tebamulaba. Bamunoonya mu b’eŋŋanda n’ab’emikwano, naye tali nabo! N’olwekyo baddayo e Yerusaalemi okumunoonya.

Mu nkomerero, Yesu bamusanga wano n’abayigiriza. Abawuliriza ng’ate bw’ababuuza ebibuuzo. Era abantu bonna beewuunya olw’amagezi Yesu g’alina. Naye Malyamu agamba: ‘Mwana wange, lwaki otukoze bw’oti? Taata wo nange tubadde beeraliikirivu nnyo nga tukunoonya.’

‘Lwaki mubadde munnoonya?’ bw’atyo Yesu bw’addamu. ‘Mubadde temumanyi nti nnina okubeera mu nnyumba ya Kitange?’

Yee, Yesu ayagala okubeera w’ayinza okuyigira ku Katonda. Naffe ekyo si kye twandibadde tukola? Ewaabwe e Nazaaleesi, Yesu yagendanga mu nkuŋŋaana okusinza buli wiiki. Olw’okuba yassangayo omwoyo, yayiga ebintu bingi okuva mu Baibuli. Ka tubeere nga Yesu era tugoberere ekyokulabirako kye.

Lukka 2:41-52; Matayo 13:53-56.



Ebibuuzo

  • Mu kifaananyi kino Yesu aweza emyaka emeka, era ali ludda wa?
  • Yusufu n’ab’omu maka ge baakolanga ki buli mwaka?
  • Oluvannyuma lw’okutambulira olunaku lumu nga baddayo eka, lwaki ate Yusufu ne Malyamu bakomawo e Yerusaalemi?
  • Yusufu ne Malyamu basanga wa Yesu, era lwaki abantu beewuunya?
  • Yesu addamu atya nnyina, Malyamu?
  • Tuyinza tutya okubeera nga Yesu mu kuyiga ebikwata ku Katonda?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Lukka 2:41-52.

    Wadde ng’Amateeka gaali geetaagisa basajja bokka okugenda ku mbaga ezaabangawo buli mwaka, kyakulabirako ki ekirungi Yusufu ne Malyamu kye baateerawo abazadde leero? (Luk. 2:41; Ma. 16:16; 31:12; Nge. 22:6)

    Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateerawo abato leero ku kugondera bazadde baabwe? (Luk. 2:51; Ma. 5:16; Nge. 23:22; Bak. 3:20)

  • Soma Matayo 13:53-56.

    Baganda ba Yesu abana aboogerebwako mu Baibuli be baani, era oluvannyuma babiri ku bo bakozesebwa batya mu kibiina Ekikristaayo? (Mat. 13:55; Bik. 12:17; 15:6, 13; 21:18; Bag. 1:19; Yak. 1:1; Yuda 1)