Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olugero 84: Malayika Akyalira Malyamu

Olugero 84: Malayika Akyalira Malyamu

OMUKAZI ono afaanana obulungi ye Malyamu. Muisiraeri, abeera mu kibuga ky’e Nazaaleesi. Katonda akimanyi nti muntu mulungi nnyo. Eyo ye nsonga lwaki atumye malayika we Gabulyeri okwogera naye. Omanyi Gabulyeri ky’azze okugamba Malyamu? Ka tulabe.

‘Nkulamusizza, ggwe aweereddwa omukisa,’ bw’atyo Gabulyeri bw’amugamba. ‘Yakuwa ali naawe.’ Malyamu talabangako muntu ono. Mweraliikirivu, kubanga tamanyi ky’ategeeza. Naye amangu ago Gabulyeri amukkakkanya.

Malyamu

‘Totya, Malyamu,’ bw’atyo bw’agamba. ‘Yakuwa akusanyukidde nnyo. Eyo ye nsonga lwaki agenda okukukolera ekintu eky’ekitalo. Ojja kuzaala omwana mu kiseera ekitali kya wala. Era ojja kumutuuma erinnya Yesu.’

Gabulyeri ayongera okunnyonnyola: ‘Omwana ono ajja kubeera mukulu, era ajja kuyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Yakuwa ajja kumufuula kabaka, nga Dawudi bwe yali. Naye Yesu ajja kubeera kabaka emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo!’

‘Ekyo kisoboka kitya?’ bw’atyo Malyamu bw’abuuza. ‘Siri mufumbo. Seetabangako na musajja, kati olwo nsobola ntya okuzaala omwana?’

‘Amaanyi ga Katonda galijja gy’oli,’ bw’atyo Gabulyeri bw’addamu. ‘Bwe kityo, omwana ajja kuyitibwa Mwana wa Katonda.’ Awo n’agamba Malyamu: ‘Jjukira muganda wo Erisabesi. Abantu baagambanga nti yali mukadde nnyo okuzaala abaana. Naye kati anaatera okuzaala omwana ow’obulenzi. N’olwekyo olaba, tewaliwo kintu Katonda ky’atasobola kukola.’

Amangu ago Malyamu agamba: ‘Ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere gye ndi nga bw’ogambye.’ Awo malayika n’agenda.

Malyamu ayanguwa okukyalira Erisabesi. Erisabesi bw’awulira eddoboozi lya Malyamu, omwana ali mu lubuto lwa Erisabesi abuukabuuka olw’essanyu. Erisabesi ajjudde omwoyo gwa Katonda, era n’agamba Malyamu: ‘Oweereddwa omukisa mu bakazi bonna.’ Malyamu abeera ne Erisabesi okumala emyezi ng’esatu, n’alyoka addayo ewuwe e Nazaaleesi.

Malyamu anaatera okufumbirwa omusajja ayitibwa Yusufu. Naye Yusufu bw’amanya nti Malyamu agenda kuzaala mwana, alowooza nti tasaanidde kumuwasa. Awo malayika wa Katonda n’amugamba: ‘Totya kutwala Malyamu okuba mukyala wo. Kuba Katonda y’amuwadde omwana oyo ow’obulenzi.’ Bwe kityo, Malyamu ne Yusufu bafumbiriganwa, era ne balindirira Yesu okuzaalibwa.

Lukka 1:26-56; Matayo 1:18-25.



Ebibuuzo

  • Omukazi oyo ali mu kifaananyi y’ani?
  • Kiki Gabulyeri ky’agamba Malyamu?
  • Gabulyeri annyonnyola atya Malyamu nti agenda kuzaala omwana wadde nga teyeetabangako na musajja?
  • Kiki ekibaawo Malyamu bw’akyalira Erisabesi?
  • Kiki Yusufu ky’alowooza bw’akitegeera nti Malyamu agenda kuzaala omwana, naye ate lwaki akyusa ebirowoozo?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Lukka 1:26-56.

    Lukka 1:35 walaga ki ekikwata ku butali butuukirivu Malyamu bwe yasikira okuva ku Adamu, obulamu bw’omwana wa Katonda bwe bwakyusibwa okuva mu ttwale ery’emyoyo? (Kag. 2:11-13; Yok. 6:69; Beb. 7:26; 10:5)

    Ne bwe yali nga tannazaalibwa, kitiibwa ki Yesu kye yafuna? (Luk. 1:41-43)

    Kyakulabirako ki Malyamu kyateerawo Abakristaayo abafuna enkizo ez’enjawulo mu buweereza leero? (Luk. 1:38, 46-49; 17:10; Nge. 11:2)

  • Soma Matayo 1:18-25.

    Wadde nga Yesu teyatuumibwa linnya Emmanweri, ebyo bye yakola ng’akyali muntu byatuukiriza bitya amakulu gaalyo? (Mat. 1:22, 23; Yok. 14:8-10; Beb. 1:1-3)