Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ekitabo Kyange eky'Engero za Bayibuli

Olugero 72: Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya

Olugero 72: Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya

OMANYI lwaki omusajja ono asaba Yakuwa? Lwaki atadde ebbaluwa zino mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa? Omusajja ono ye Keezeekiya. Ye kabaka w’obwakabaka obw’omu maserengeta obw’ebika ebibiri ebya Isiraeri. Era ali mu buzibu bwa maanyi nnyo. Lwaki?

Kabaka Keezeekiya ng’asaba

Kubanga amagye ga Bwasuli gamaze okuzikiriza obwakabaka obw’ebika 10 obw’omu mambuka. Yakuwa yakkiriza kino okubaawo kubanga abantu abo baali babi nnyo. Era kati amagye ga Bwasuli gazze okulwana n’obwakabaka obw’ebika ebibiri.

Kabaka w’e Bwasuli yaakaweereza Kabaka Keezeekiya amabaluwa. Gano ge mabaluwa Keezeekiya g’atadde mu maaso ga Katonda. Amabaluwa ganyooma Yakuwa, era zigamba Keezeekiya okulekulira. Eno ye nsonga lwaki Keezeekiya asaba: ‘Ai Yakuwa, tuwonye okuva ku kabaka w’e Bwasuli. Awo amawanga gonna gajja kukimanya nti ggwe Katonda wekka.’ Yakuwa anaawuliriza Keezeekiya?

Keezeekiya kabaka mulungi. Talinga bakabaka ababi ab’obwakabaka obw’ebika 10 ebya Isiraeri, oba nga kitaawe omubi Kabaka Akazi. Keezeekiya agondedde amateeka ga Yakuwa gonna. Bwe kityo, Keezeekiya bw’amala okusaba, nnabbi Isaaya amuweereza obubaka buno okuva eri Yakuwa: ‘Kabaka w’e Bwasuli tajja kuyingira mu Yerusaalemi. Tewali n’omu ku baserikale be ajja kukisemberera. Tebajja kulasa kasaale n’akamu ku kibuga.’

Tunuulira ekifaananyi ku lupapula luno. Omanyi abaserikale bano bonna abafudde? Baasuli. Yakuwa yatuma malayika we, era mu kiro kimu malayika yatta abaserikale Abaasuli 185,000. Bwe kityo, kabaka w’e Bwasuli alekulira n’addayo ewaabwe.

Emirambo gy’abasirikale ba Bwasuli

Obwakabaka obw’ebika ebibiri buwonawo era abantu baba n’emirembe okumala akaseera. Naye Keezeekiya bw’amala okufa, mutabani we Manase afuuka kabaka. Manase ne mutabani we Amoni amuddira mu bigere bakabaka babi nnyo. Era ensi eddamu okujjula obumenyi bw’amateeka n’ettemu. Kabaka Amoni bw’atemulwa abaweereza be, mutabani we Yosiya afuulibwa kabaka w’obwakabaka obw’ebika ebibiri.

2 Bassekabaka 18:1-36; 19:1-37; 21:1-25.



Ebibuuzo

  • Omusajja oyo ali mu kifaananyi y’ani, era lwaki mweraliikirivu?
  • Mabaluwa ki Keezeekiya g’atadde mu maaso ga Katonda, era kiki Keezeekiya ky’asaba?
  • Keezeekiya kabaka wa ngeri ki, era bubaka ki Yakuwa bw’amuwa okuyitira mu nnabbi Isaaya?
  • Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki malayika wa Yakuwa ky’akoze Abaasuli?
  • Wadde nga kati obwakabaka obw’ebika ebibiri bufunye emirembe okumala akaseera, kiki ekibaawo oluvannyuma lw’okufa kwa kabaka Keezeekiya?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma 2 Bassekabaka 18:1-36.

    Omwogezi wa Bwasuli ayitibwa Labusake agezaako atya okunafuya okukkiriza kw’Abaisiraeri? (2 Bassek. 18:19, 21; Kuv. 5:2; Zab. 64:3)

    Bwe boolekagana n’ababaziyiza, Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera batya ekyokulabirako kya Keezeekiya? (2 Bassek. 18:36; Zab. 39:1; Nge. 26:4; 2 Tim. 2:24)

  • Soma 2 Bassekabaka 19:1-37.

    Abantu ba Yakuwa leero bakoppa batya ekyokulabirako kya Keezeekiya nga bali mu biseera ebizibu? (2 Bassek. 19:1, 2; Nge. 3:5, 6; Beb. 10:24, 25; Yak. 5:14, 15)

    Mirundi ki esatu Kabaka Sennakeribu gye yawangulibwa, era ani gw’akiikirira mu ngeri ey’obunnabbi? (2 Bassek. 19:32, 35, 37; Kub. 20:2, 3)

  • Soma 2 Bassekabaka 21:1-6, 16.

    Lwaki kiyinza okugambibwa nti Manase y’omu ku bakabaka abaasingayo okuba ababi abaafuga Yerusaalemi? (2 Byom. 33:4-6, 9)