KATI ebibuga bingi mu Kanani byetegeka okulwanyisa Isiraeri. Birowooza nti biyinza okuwangula. Naye bo abantu b’omu kibuga kya Gibyoni ekiriraanyewo tebalowooza bwe batyo. Bakkiriza nti Katonda ayamba Abaisiraeri, era tebaagala kulwanyisa Katonda. Kati olwo, omanyi Abagibyoni kye bakola?

Basalawo okulabika ng’abava ewala. Bwe kityo abamu ku basajja bambala engoye enjulifu n’engatto ezikutuse. Batikka endogoyi zaabwe ensawo enkadde, ne batwala emigaati egikutte obukuku. Awo ne bagenda ewa Yoswa ne bamugamba nti: ‘Tuvudde mu nsi ey’ewala, kubanga twawulira ku Katonda wammwe ow’amaanyi, Yakuwa. Twawulira ebintu byonna bye yabakolera mu Misiri. N’olwekyo abakulembeze baffe baatugamba tuteeketeeke emmere ey’okutwala ku lugendo tujje tubagambe nti: “Tuli baddu bammwe. Mutusuubize nti temujja kulwana naffe.” Muyinza n’okulaba nti engoye zaffe zikutuse olw’olugendo oluwanvu era n’emmere yaffe ekukudde.’

Yoswa n’abakulembeze abalala bakkiriza ebyo Abagibyoni bye babagamba. N’olwekyo basuubiza obutabalwanyisa. Naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu bakizuula nti Abagibyoni babeera kumpi awo.

Yoswa ababuuza nti: ‘Lwaki mwatugamba nti muva mu nsi ey’ewala?’

Abagibyoni baddamu: ‘Twakikola kubanga twawulira nti Katonda wammwe Yakuwa yabasuubiza okubawa ensi yonna eya Kanani. Bwe kityo, twatya nti mujja kututta.’ Naye Abaisiraeri bakuuma ekisuubizo kyabwe, era tebatta Bagibyoni. Wabula babafuula baddu baabwe.

Kabaka wa Yerusaalemi asunguwala nnyo kubanga Abagibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abaisiraeri. Bw’atyo agamba bakabaka abalala bana: ‘Mujje munyambe okulwanyisa Abagibyoni.’ Era ekyo bakabaka bano abataano kye bakola. Abagibyoni baali ba magezi okukola emirembe ne Isiraeri, kati ekireetedde bakabaka bano abalala okujja okubalwanyisa? Tujja kulaba.

Yoswa 9:1-27; 10:1-5.

Yoswa n’Abagibyoni


Ebibuuzo

  • Mu ngeri ki Abagibyoni gye bali ab’enjawulo ku Bakanani abali mu bibuga eby’okumuliraano?
  • Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki Abagibyoni kye bakola, era lwaki?
  • Kiki Yoswa n’abakulembeze ba Isiraeri kye basuubiza Abagibyoni, naye kiki kye bazuula oluvannyuma lw’ennaku ssatu?
  • Bakabaka ab’ebibuga ebirala bakola ki bwe bawulira nti Abagibyoni bakoze endagaano ey’emirembe ne Isiraeri?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Yoswa 9:1-27.

    Okuva Yakuwa bwe yali alagidde eggwanga lya Isiraeri ‘okuzikiriza bonna abali mu nsi,’ ngeri ki ze yayoleka bwe yawonyawo Abagibyoni? (Yos. 9:22, 24; Mat. 9:13; Bik. 10:34, 35; 2 Peet. 3:9)

    Kyakulabirako ki Yoswa kye yateerawo Abakristaayo leero bwe yanywerera ku ndagaano gye yakola n’Abagibyoni? (Yos. 9:18,19; Mat. 5:37; Bef. 4:25)

  • Soma Yoswa 10:1-5.

    Ngeri ki ab’ekibiina ekinene gye bakoppamu Abagibyoni leero, era kino kibateeka mu kabi ki? (Yos. 10:4; Zek. 8:23; Mat. 25:35-40; Kub. 12:17)