Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olugero 46: Bbugwe wa Yeriko

Olugero 46: Bbugwe wa Yeriko

KIKI ekireetedde bbugwe wa Yeriko okugwa? Alabika ng’asuuliddwako bbomu ey’amaanyi. Naye mu kiseera ekyo tebaalina bbomu; tebaalina na mundu. Kino kyamagero ekirala Yakuwa ky’akoze! Ka tulabe engeri gye kyajjamu.

Bbugwe wa Yeriko ng’agwa

Wuliriza Yakuwa by’alagira Yoswa: ‘Ggwe n’abasajja bo abalwanyi mujja kwetooloola ekibuga. Mukyetooloole omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Mutambulenga n’essanduuko y’endagaano. Bakabona musanvu bajja kutambulira mu maaso gaayo era bafuuwenga eŋŋombe zaabwe.

‘Ku lunaku olw’omusanvu mujja kwetooloola ekibuga emirundi musanvu. Awo mufuuwe eŋŋombe era buli omu awoganire waggulu. Era bbugwe ajja kugwa wansi!’

Yoswa n’abantu ne bakola ekyo Yakuwa ky’alagidde. Nga beetooloola, buli omu aba asirise. Tewali n’omu ayogera kigambo kyonna. Ekintu kyokka ekiwulirwa ly’eddoboozi ly’eŋŋombe n’omusinde gw’ebigere. Abalabe b’abantu ba Katonda abali mu Yeriko bateekwa okuba nga batidde nnyo. Osobola okulaba omuguwa omumyufu oguleebeeta mu ddirisa? Ddirisa ly’ani eryo? Yee, Lakabu akoze abakessi ababiri kye baamugamba. Ab’eŋŋanda ze bonna abali naye munda balaba ekigenda mu maaso.

Yoswa

Kulwaddaaki, ku lunaku olw’omusanvu, oluvannyuma lw’okwetooloola ekibuga emirundi musanvu, eŋŋombe zivuga, abasajja abalwanyi bawogana, era bbugwe agwa. Awo Yoswa agamba: ‘Mutte buli muntu ali mu kibuga era mukyokye. Mwokye buli kintu kyonna. Naye effeeza, zaabu, n’ebintu eby’ekikomo n’ekyuma, temubyokya era mubiweeyo mu ggwanika ly’ennyumba ya Yakuwa.’

Eri abakessi ababiri, Yoswa agamba: ‘Mugende mu nnyumba ya Lakabu, muggyeyo ab’eŋŋanda ze bonna.’ Lakabu n’ab’eŋŋanda ze bawonawo nga abakessi bwe baamusuubiza.

Yoswa 6:1-25.



Ebibuuzo

  • Kiki Yakuwa ky’agamba abasajja abalwanyi ne bakabona okukola okumala ennaku omukaaga?
  • Abasajja balina kukola ki ku lunaku olw’omusanvu?
  • Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki ekituuse ku bisenge bya Yeriko?
  • Lwaki omuguwa omumyufu guleebeetera ku ddirisa?
  • Kiki Yoswa ky’agamba abasajja abalwanyi okukola abantu n’ekibuga, naye ate effeeza, zaabu, ebintu eby’ekikomo n’ekyuma alagira bikolebwe bitya?
  • Abakessi ababiri bagambibwa kukola ki?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Yoswa 6:1-25.

    Mu ngeri ki Abaisiraeri okwetooloola ekibuga kya Yeriko ku lunaku olw’omusanvu gye kifanagana n’omulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nnaku zino ez’oluvannyuma? (Yos. 6:15, 16; Is. 60:22; Mat. 24:14; 1 Kol. 9:16)

    Obunnabbi obuli mu Yoswa 6:26 bwatuukirizibwa butya oluvannyuma lw’emyaka nga 500, era ekyo kituyigiriza ki ku Kigambo kya Yakuwa? (1 Bassek. 16:34; Is. 55:11)