Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ekitabo Kyange eky'Engero za Bayibuli

Olugero 34: Ekika ky’Emmere Ekippya

Olugero 34: Ekika ky’Emmere Ekippya

OSOBOLA okutegeera abantu kye balonda okuva ku ttaka? Kifaanana ng’omuzira. Buntu bweru, butonotono, era bufaanana ng’omuzira. Naye si muzira; bya kulya.

Abaisiraeri nga bakuŋŋaanya emmaanu

Waakayitawo omwezi nga gumu gwokka kasookedde Abaisiraeri bava mu Misiri. Bali mu ddungu. Emmere ntono nnyo ekulayo, era abantu beemulugunya, nga bagamba: ‘Singa Yakuwa yatuttira mu Misiri. Kuba eyo twalyanga emmere yonna gye twayagalanga.’

N’olwekyo Yakuwa agamba: ‘Ŋŋenda okutonnyesa emmere okuva mu ggulu.’ Era ekyo Yakuwa ky’akola. Enkeera Abaisiraeri bwe balaba obuntu buno obweru, buli omu abuuza munne: ‘Kino kiki?’

Musa agamba: ‘Eno ye mmere Yakuwa gy’abawadde okulya.’ Abantu bagiyita MMAANU. Ewoomerera nga bukeeki obutono obuteekeddwamu omubisi gw’enjuki.

Munaakuŋŋaanyanga buli muntu gy’asobola okulya,’ bw’atyo Musa bw’abagamba. N’olwekyo buli nkya ekyo kye bakola. Awo, akasana bwe kaaka, mmaanu esigaddewo ku ttaka esaanuuka.

Era Musa agamba: ‘Tewabaawo atereka mmaanu okutuusa olunaku oluddako’ Naye abantu abamu tebawuliriza. Omanyi kiki ekibaawo? Enkeera mmaanu gye baba baterese eba ejjudde envunyu, era etandika okuwunya!

Kyokka, waliwo olunaku lumu mu wiiki Yakuwa lw’alagira abantu okukuŋŋaanya mmaanu ekubisaamu emirundi ebiri. Luno lwe lunaku olw’omukaaga. Era Yakuwa abalagira okufissaawo gye banaalya olunaku oluddako, kubanga tajja kutonyesayo mmaanu yonna ku lunaku olw’omusanvu. Bwe bafissaawo mmaanu okutuusa enkeera ku lunaku olw’omusanvu, tejjula nvunyu era tewunya! Kino kyamagero ekirala!

Emyaka gyonna Abaisiraeri gye babeera mu ddungu Yakuwa abaliisa mmaanu.

Okuva 16:1-36; Okubala 11:7-9; Yoswa 5:10-12.



Ebibuuzo

  • Nga bwe kirabika mu kifaananyi, kiki abantu kye balonda, era kiyitibwa kitya?
  • Tteeka ki Musa ly’awa abantu ku bikwata ku kulonda mmaanu?
  • Kiki Yakuwa ky’agamba abantu okukola ku lunaku olw’omukaaga, era lwaki?
  • Kyamagero ki Yakuwa ky’akola mmaanu bw’eterekebwa okutuuka ku lunaku olw’omusanvu?
  • Bbanga ki Yakuwa lyamala ng’aliisa abantu emmaanu?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Okuva 16:1-36 ne Okubala 11:7-9.

    Okuva 16:8 lutulaga lutya nti tulina okussa ekitiibwa mu abo abalondeddwa okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo? (Beb. 13:17)

    Nga bali mu ddungu, Abaisiraeri, bajjukizibwanga batya buli lunaku nti obulamu bwabwe bwali bwesigamye ku Yakuwa? (Kuv. 16:14-16, 35; Ma. 8:2, 3)

    Makulu ki ag’akabonero agakwata ku mmaanu Yesu ge yawa, era tuganyulwa tutya mu ‘mmere eno eyava mu ggulu’? (Yok. 6:31-35, 40)

  • Soma Yoswa 5:10-12.

    Abaisiraeri mmaanu baagiriira myaka emeka, era kino kyabagezesa kitya, ffe kino tukiyigirako ki? (Kuv. 16:35; Kubal. 11:4-6; 1 Kol. 10:10, 11)