Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ekitabo Kyange eky'Engero za Bayibuli

Olugero 19: Yakobo Afuna Amaka Amanene

Olugero 19: Yakobo Afuna Amaka Amanene
Yakobo ne batabani be

TUNUULIRA amaka gano amanene. Bano be batabani ba Yakobo 12. Era yalina n’abaana ab’obuwala. Omanyi amannya g’abaana bano? Ka tuyige agamu ku go.

Leeya yazaala Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda. Laakeeri bwe yalaba nga tazaddeyo mwana n’omu yanakuwala nnyo. N’olw’ensonga eyo yawa Yakobo omuzaana we Biira, era Biira n’azaala abaana ab’obulenzi babiri abayitibwa Ddaani ne Nafutaali. Awo Leeya naye n’awa Yakobo omuzaana we Zirupa, era Zirupa n’azaala Gaadi ne Aseri. Leeya yazaala abaana ab’obulenzi abalala babiri, Isakaali ne Zebbulooni.

Laakeeri yalwaddaaki naye n’azaala omwana. Yamutuuma erinnya Yusufu. Oluvannyumako tujja kuyiga ebirala bingi ebikwata ku Yusufu, kubanga yafuuka omuntu omukulu ennyo. Bano be baana ab’obulenzi 11 Yakobo be yazaala bwe yali ng’abeera ewa taata wa Laakeeri Labbaani.

Yakobo era yazaala abaana ab’obuwala, naye Baibuli etubuulirako omu yekka. Erinnya lye yali Dina.

Ekiseera kyatuuka Yakobo n’asalawo okuva ewa Labbaani addeyo e Kanani. Bwe kityo, n’akuŋŋaanya wamu amaka ge amanene era n’ebisibo bye eby’endiga n’amagana ge ag’ente, n’atandika olugendo oluwanvu.

Akaseera katono oluvannyuma lwa Yakobo n’ab’omu maka ge okukomawo e Kanani, Laakeeri yazaala omwana omulala ow’obulenzi. Kyabaawo nga bali ku lugendo. Laakeeri yafuna obuzibu bwa maanyi, era n’afa ng’azaala. Naye omwana omulenzi gwe yazaala yali bulungi. Yakobo yamutuuma Benyamini.

Twagala okujjukira amannya ga batabani ba Yakobo 12, kubanga eggwanga lyonna erya Isiraeri lyava mu bo. Mu butuufu, ebika bya Isiraeri 12 byatuumibwa amannya ga batabani ba Yakobo 10 ne batabani ba Yusufu babiri. Isaaka yawangaala emyaka mingi oluvannyuma lw’okuzaalibwa kw’abalenzi bano bonna, era kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo okuba n’abazzukulu abangi. Naye ka tulabe ekyatuuka ku muzzukulu we Dina.

Olubereberye 29:32-35; 30:1-26; 35:16-19; 37:35.



Ebibuuzo

  • Batabani ba Yakobo omukaaga be yazaala mu mukazi we eyasooka Leeya, be baani?
  • Baana ki ababiri ab’obulenzi omuzaana wa Leeya Zirupa be yazaalira Yakobo?
  • Abaana ab’obulenzi ababiri omuzaana wa Laakeeri Biira be yazaalira Yakobo be baani?
  • Baana ki ababiri ab’obulenzi Laakeeri be yazaala, naye kiki ekyabaawo ng’omwana ow’okubiri azaaliddwa?
  • Okusinzira ku kifaananyi, Yakobo yalina abalenzi bameka, era baavaamu ki?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Olubereberye 29:32-35; 30:1-26; ne 35:16-19.

    Nga bwe kyali eri batabani ba Yakobo 12, abaana ab’obulenzi Abaebbulaniya baatuumibwanga batya amannya mu biseera eby’edda?

  • Soma Olubereberye 37:35.

    Wadde nga Dina yekka yayogerwako mu Baibuli, tumanya tutya nti Yakobo yalina abawala abasukka mu omu? (Lub. 37:34, 35)