Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Ekitabo Kyange eky'Engero za Bayibuli

Olugero 14: Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu

Olugero 14: Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu

OLABA Ibulayimu ky’akola wano? Akutte ekiso, era kirabika nga agenda kutta mwana we. Lwaki yandikoze ekintu ng’ekyo? Okusooka, ka tulabe engeri Ibulayimu ne Saala gye baafunamu omwana.

Ibulayimu ng’awaayo Isaaka nga ssaddaaka

Jjukira, Katonda yabasuubiza nti bandifunye omwana. Naye ekyo kyalabika ng’ekitasoboka, kuba Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo. Kyokka, Ibulayimu yakkiriza nti Katonda yandiyinzizza okukola ekyalabika ng’ekizibu. Kati kiki ekyabaawo?

Oluvannyuma lwa Katonda okubasuubiza, omwaka mulamba gwayitawo. Kyokka, Ibulayimu bwe yali ng’aweza emyaka 100 ate Saala ng’aweza myaka 90, baazaala omwana ow’obulenzi ayitibwa Isaaka. Katonda yali atuukiriza ekisuubizo kye!

Naye Isaaka bwe yakula, Yakuwa yagezesa okukkiriza kwa Ibulayimu. Yamukoowoola: ‘Ibulayimu!’ Era Ibulayimu n’amuddamu: ‘Nze nzuuno!’ Awo Katonda n’amugamba: ‘Twala omwana wo, omwana wo omu yekka, Isaaka, ogende ku lusozi lwe nnaakulaga. Ng’otuuse eyo tta omwana wo, omuweeyo nga ssaddaaka.’

Ng’ebigambo ebyo byanakuwaza nnyo Ibulayimu, kubanga Ibulayimu yali ayagala nnyo mutabani we. Ate jjukira, Katonda yali asuubizza nti abaana ba Ibulayimu bajja kubeera mu nsi ya Kanani. Naye ekyo kyandisobose kitya nga Isaaka afudde? Ibulayimu yali takitegeera, naye era yagondera Katonda.

Bwe yatuuka ku lusozi, Ibulayimu yasiba Isaaka era n’amuteeka ku kyoto kye yazimba. Awo, n’asowolayo ekiso atte omwana we. Naye mu kiseera ekyo kyennyini, malayika wa Katonda yamukoowoola: ‘Ibulayimu, Ibulayimu!’ Era Ibulayimu n’amuddamu: ‘Nze nzuuno!’

‘Omwana tomulumya oba okumukola ekintu kyonna,’ bw’atyo Katonda bwe yamugamba. ‘Kati ntegedde nti olina okukkiriza mu nze, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu yekka.’

Nga kukkiriza kwa maanyi nnyo Ibulayimu kwe yalina mu Katonda! Yakkiriza nti tewali kitasoboka eri Yakuwa, era nti Yakuwa yandisobodde okuzuukiza Isaaka okuva mu bafu. Naye mazima ddala tekyali kigendererwa kya Katonda Ibulayimu okutta Isaaka. Bwe kityo, Katonda yaleetera endiga okuwagamira mu kisaka ekiri okumpi awo, era n’agamba Ibulayimu okugissaddaaka mu kifo kya mutabani we.

Olubereberye 21:1-7; 22:1-18.



Ebibuuzo

  • Kiki Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, era yakituukiriza atya?
  • Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, Katonda yagezesa atya okukkiriza kwa Ibulayimu?
  • Ibulayimu yakola ki, wadde yali tamanyi nsonga lwaki Katonda yamuwa ekiragiro ekyo?
  • Kiki ekyabaawo nga Ibulayimu asowoddeyo ekiso okutta omwana we?
  • Okukkiriza Ibulayimu kwe yalina mu Katonda kwali kunywevu kwenkana wa?
  • Kiki Katonda kye yawa Ibulayimu okuwaayo nga ssaddaaka, era yakimuwa atya?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Olubereberye 21:1-7.

    Lwaki Ibulayimu yakomola mutabani we ku lunaku olw’omunaana? (Lub. 17:10-12; 21:4)

  • Soma Olubereberye 22:1-18.

    Isaaka yalaga atya obuwulize eri kitaawe, Ibulayimu, era kino kyasonga kitya ku kintu ekisingawo obukulu mu biseera eby’omu maaso? (Lub. 22:7-9; 1 Kol. 5:7; Baf. 2:8, 9)