Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olugero 3: Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Olugero 3: Omusajja n’Omukazi Abaasooka

KIKI eky’enjawulo ekiri mu kifaananyi kino? Yee, be bantu abakirimu. Ye musajja n’omukazi abaasooka. Ani yabatonda? Katonda. Omanyi erinnya lye? Ye Yakuwa. Era omusajja n’omukazi baayitibwa Adamu ne Kaawa.

Adamu ne Kaawa mu lusuku Adeni

Eno ye ngeri Yakuwa Katonda gye yatondamu Adamu. Yatoola enfuufu y’ensi n’agibumbamu omubiri ogutuukiridde, omubiri gw’omusajja. Awo n’afuuwa omukka mu nnyindo z’omusajja, Adamu n’afuuka omulamu.

Yakuwa Katonda yawa Adamu omulimu ogw’okukola. Yalagira Adamu okutuuma amannya ebika by’ebisolo byonna. Adamu ayinza okuba nga yatunuulira ebisolo okumala ekiseera kiwanvu n’asobola okubituuma byonna amannya agabisaanira. Adamu bwe yali ng’awa ebisolo amannya alina kye yeetegereza. Omanyi kyali kiki?

Buli kisolo kyalina kinneewaakyo. Waaliwo enjovu ensajja n’enjovu enkazi, era waaliwo empologoma ensajja n’empologoma enkazi. Naye Adamu teyalina munne. Yakuwa yaleetera Adamu otulo tungi, era n’amuggyamu olubiriizi. Ng’akozesa olubiriizi olwo, Yakuwa yakolera Adamu omukazi, era yafuuka mukyala we.

Nga Adamu yasanyuka nnyo! Era lowooza ku ssanyu Kaawa lye yafuna bwe yateekebwa mu lusuku olufaanana obulungi ng’olwo! Kati baali basobola okufuna abaana era ne babeera wamu mu ssanyu.

Yakuwa yayagala Adamu ne Kaawa okubeerawo emirembe gyonna. Yayagala bafuule ensi yonna ekifo ekirabika obulungi ennyo ng’olusuku Adeni. Nga Adamu ne Kaawa bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baalowooza ku kukola kino! Ggwe wandyagadde okwenyigira mu kufuula ensi olusuku olufaanana obulungi ennyo? Naye essanyu lya Adamu ne Kaawa teryawangaala. Ka tulabe lwaki.

Zabbuli 83:18; Olubereberye 1:26-31; 2:7-25.



Ebibuuzo

  • Ekifaananyi ekiri mu Lugero 3 kyawukana kitya n’ekyo ekiri mu Lugero 2?
  • Ani yatonda omusajja eyasooka, era erinnya ly’omusajja oyo y’ani?
  • Mulimu ki Katonda gwe yawa Adamu okukola?
  • Lwaki Katonda yeebasa Adamu otulo otungi?
  • Adamu ne Kaawa bandibadde balamu kumala bbanga ki, era mulimu ki Yakuwa gwe yali ayagala bakole?

Ebibuuzo ebyongerezeddwako

  • Soma Zabbuli 83:18.

    Erinnya lya Katonda y’ani, era alina kifo ki eky’enjawulo ku nsi? (Yer. 16:21; Dan. 4:17)

  • Soma Olubereberye 1:26-31.

    Kiki Katonda kye yasembayo okutonda ku lunaku olw’omukaaga, era kyawukana kitya ku bisolo? (Lub. 1:26)

    Kiki Yakuwa kye yawa abantu n’ebisolo? (Lub. 1:30)

  • Soma Olubereberye 2:7-25.

    Omulimu gwa Adamu ogw’okutuuma ebisolo amannya gwali guzingiramu ki? (Lub. 2:19)

    Olubereberye 2:24 lutuyamba lutya okuteegera endowooza ya Yakuwa ku bufumbo, okwawukana, era n’okugattululwa? (Mat. 19:4-6, 9)