1. Mawulire ki amalungi agakwata ku abo abaafa?

Yesu bwe yatuuka e Bessaniya okumpi ne Yerusaalemi, yasanga mukwano gwe Lazaalo yaakamala ennaku nnya ng’afudde. Yesu yagenda awaali entaana ng’ali wamu ne Maliza ne Maliyamu, bannyina Lazaalo. Mu kaseera katono, abantu baakuŋŋaana. Olowooza Maliza ne Maliyamu baawulira batya nga Yesu azuukizza Lazaalo?​—Soma Yokaana 11:21-24, 38-44.

Maliza yali amanyi amawulire amalungi agakwata ku abo abaafa. Yali amanyi nti Yakuwa ajja kuzuukiza abafu baddemu okubeera ku nsi.​—Soma Yobu 14:14, 15.

2. Abafu bali mu mbeera ki?

Katonda yagamba Adamu nti: “Oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.”​—OLUBEREBERYE 3:19.

Abantu baatondebwa okuva mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) Tetuli myoyo egyambadde emibiri gy’ennyama, era bwe tufa tewali kisigalawo nga kiramu. Bwe tufa, n’obwongo bwaffe bufa, era tuba tetukyasobola kulowooza. Eyo ye nsonga lwaki Lazaalo talina kye yayogera ku mbeera gye yalimu ng’afudde, kubanga abafu tebaliiko kye bamanyi.​—Soma Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, 6,10.

Katonda ayokya abantu mu muliro nga bafudde? Okuva Bayibuli bw’egamba nti abafu tebaliiko kye bamanyi, enjigiriza ey’omuliro ogutazikira ya bulimba era ereetera abantu okunenya Katonda olw’ekintu ky’atakola. Katonda akyayira ddala ekikolwa eky’okwokya abantu mu muliro.​—Soma Yeremiya 7:31.

 3. Abafu basobola okwogera naffe?

Abafu tebasobola kwogera wadde okuwulira. (Zabbuli 115:17) Naye waliwo bamalayika ababi, era bamalayika abo basobola okwogera n’abantu nga beefuula okuba abantu abaafa. (2 Peetero 2:4) Yakuwa tayagala twebuuza ku bafu.​—Soma Ekyamateeka 18:10, 11.

4. Baani abanaazuukizibwa?

Obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa bajja kuzuukira baddemu okubeera ku nsi. N’abamu ku abo abaali batamanyi Katonda era abaakolanga ebintu ebibi bajja kuzuukizibwa.​—Soma Lukka 23:43; Ebikolwa 24:15.

Abo abanaazuukizibwa bajja kuyiga ebikwata ku Katonda, kibasobozese okukkiririza mu Yesu n’okumugondera. (Okubikkulirwa 20:11-13) Abo abanaazuukizibwa ne bakola ebintu ebirungi bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi.​—Soma Yokaana 5:28, 29.

5. Okuzuukira kutuyigiriza ki ku Yakuwa?

Abantu balina essuubi ery’okuzuukira kubanga Katonda yatuma Omwana we n’atufiirira. N’olwekyo, okuzuukira kwoleka okwagala kwa Yakuwa n’ekisa kye eky’ensusso. Ani gwe wandyagadde okulaba ng’abafu bazuukiziddwa?​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23.