Akatabo kano kajja kukuyamba okutegeera ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Ebyawandiikibwa ebiri ku nkomerero ya buli katundu biraga wa mu Bayibuli yo w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu bibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu.

Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, weetegereze engeri gye biddamu ebibuuzo ebyo. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa asobola okukuyamba okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.​—Soma Lukka 24:32, 45.

Weetegereze: Ebitabo ebijuliziddwa mu katabo kano byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.