1. Eddiini zonna nnungi?

Mu ddiini zonna mulimu abantu abeesimbu. Kirungi okukimanya nti Katonda amanyi abantu ng’abo era abafaako. Naye eky’ennaku, eddiini zikoze ebintu ebibi bingi nnyo. (2 Abakkolinso 4:3, 4; 11:13-15) Okusinziira ku ebyo ebifulumira mu mikutu gy’amawulire, eddiini ezimu zeenyigira mu bikolwa eby’obutujju, mu kittabantu, ne mu ntalo, zitulugunya abaana era n’abakulembeze baazo bakwata abaana abato. Ekyo nga kinakuwaza nnyo abantu abeesimbu abakkiririza mu Katonda!​—Soma Matayo 24:3-5, 11, 12.

Eddiini ey’amazima egulumiza Katonda naye eddiini ez’obulimba tezimuweesa kitiibwa. Eddiini ez’obulimba ziyigiriza ebintu ebiteesigamiziddwa ku Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, ziyigiriza eby’obulimba ku Katonda ne ku mbeera y’abafu. Naye Yakuwa ayagala abantu bamanye amazima agamukwatako.​—Soma Omubuulizi 9:10; 1 Timoseewo 2:3-5.

2. Kiki ekinaatuuka ku ddiini?

Katonda tasanyukira ddiini ezigamba nti zimwagala naye nga mu butuufu zaagala nsi ya Sitaani. (Yakobo 4:4) Ekigambo kya Katonda kiyita eddiini zonna ez’obulimba “Babulooni Ekinene.” Eddiini zonna ez’obulimba zaasibuka mu kibuga Babulooni eky’edda oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuzikiriza eddiini zonna ezibuzaabuza abantu era ezibanyigiriza.​—Soma Okubikkulirwa 17:1, 2, 5, 16, 17; 18:8.

 Kyokka Yakuwa teyeerabidde bantu abeesimbu abali mu ddiini ez’obulimba mu nsi yonna. Ayambye abantu ng’abo okujja mu kibiina kye ng’abayigiriza amazima.​—Soma Mikka 4:2, 5.

3. Kiki abantu abeesimbu kye basaanidde okukola?

Eddiini ey’amazima egatta wamu abantu

Yakuwa afaayo ku bantu abaagala okumanya ekituufu n’ekirungi. Abakubiriza bave mu ddiini ez’obulimba. Abantu abaagala Katonda baba beetegefu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okumusanyusa.​—Soma Okubikkulirwa 18:4.

Mu kyasa ekyasooka, abantu abeesimbu baasanyuka nnyo abatume bwe baababuulira amawulire amalungi. Yakuwa yabayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne kibayamba okuba n’obulamu obulina ekigendererwa. Baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga bakkirizza amawulire amalungi ne bakulembeza mu bulamu bwabwe ebyo Yakuwa by’ayagala.​—Soma 1 Abassessalonika 1:8, 9; 2:13.

Abakyuka ne bava mu ddiini ez’obulimba Yakuwa abaaniriza mu ddiini ey’amazima. Bw’onootandika okusinza Yakuwa, ojja kufuuka mukwano gwe, ojja kwegatta ku bantu abamusinza era abooleka okwagala, era ojja kufuna obulamu obutaggwawo.​—Soma Makko 10:29, 30; 2 Abakkolinso 6:17, 18.

4. Katonda anaaleeta atya essanyu mu nsi yonna?

Eddiini ez’obulimba zinaatera okuzikirizibwa, era ago mawulire malungi. Tezijja kuddamu kunyigiriza bantu mu nsi yonna. Tezijja kuddamu kubuzaabuza bantu na kubaawulayawulamu. Buli omu ajja kuba asinza Katonda omu yekka ow’amazima.​—Soma Okubikkulirwa 18:20, 21; 21:3, 4.