Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 Essomo 1

Mawulire Ki Amalungi?

Mawulire Ki Amalungi?

1. Mawulire ki agava eri Katonda?

Katonda ayagala abantu banyumirwe obulamu ku nsi. Yatonda ensi n’ebintu byonna ebigiriko olw’okuba ayagala abantu. Anaatera okubaako ky’akolawo abantu bonna mu nsi basobole okuba obulungi. Ajja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona.Soma Yeremiya 29:11, NW.

Tewali gavumenti eyali esobodde kumalawo bikolwa bya bukambwe, endwadde, oba okufa. Naye waliwo amawulire amalungi. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu ateekewo eyiye. Abo abanaafugibwa gavumenti ye bajja kuba n’emirembe era nga balamu bulungi.Soma Isaaya 25:8; 33:24; Danyeri 2:44.

2. Lwaki kikulu okussaayo omwoyo ku mawulire amalungi?

Okubonaabona kujja kuggwaawo nga Katonda azikirizza abantu ababi bonna. (Zeffaniya 2:3) Ekyo kinaabaawo ddi? Ekigambo kya Katonda kyayogera dda ku mbeera embi ezinyigiriza abantu leero. Ebiriwo mu nsi biraga nti Katonda anaatera okuzikiriza abantu ababi.Soma 2 Timoseewo 3:1-5.

3. Kiki kye tusaanidde okukola?

Tusaanidde okuyiga ebikwata ku Katonda okuva mu Kigambo kye Bayibuli. Bayibuli eringa ebbaluwa taata gy’awandiikidde abaana be b’ayagala. Etutegeeza engeri gye tuyinza okuba n’obulamu obulungi kati era n’engeri gye tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Abantu abamu bayinza obutayagala oyige ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye okuva bwe kiri nti Katonda atusuubizza obulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso, tetusaanidde kukkiriza muntu yenna kutulemesa kuyiga bikwata ku bulamu obwo.Soma Engero 29:25; Okubikkulirwa 14:6, 7.