ESSOMO 1
Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda
“Oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi.”—Matayo 19:4
Yakuwa * Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo. Bayibuli egamba nti Katonda yatonda omukazi eyasooka ‘n’amuleeta eri omusajja.’ Adamu yasanyuka nnyo n’atuuka n’okugamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange.” (Olubereberye 2:22, 23) Ne leero Yakuwa ayagala abafumbo babeere basanyufu.
Bwe muba mwakafumbiriganwa, muyinza okulowooza nti temujja kufuna kizibu kyonna mu bufumbo bwammwe. Kyokka, n’abafumbo abaagalana ennyo oluusi bafuna obutategeeragana. (1 Abakkolinso 7:28) Akatabo kano kalimu amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe munaagakolerako, obufumbo bwammwe bujja kubaamu essanyu, era n’amaka gammwe gajja kuba geeyagaza.—Zabbuli 19:8-11.
1 TUUKIRIZA OBUVUNAANYIZIBWA KATONDA BWE YAKUWA
BAYIBULI KY’EGAMBA: Omwami gwe mutwe gw’amaka.—Abeefeso 5:23.
Bw’oba ng’oli mwami mu maka, Yakuwa ayagala oyise bulungi mukyala wo. (1 Peetero 3:7) Yamukuwa ng’omubeezi akusaanira; ayagala omwagale era omuwe ekitiibwa. (Olubereberye 2:18) Osaanidde okwagala ennyo mukyala wo, ng’okulembeza by’ayagala so si ggwe by’oyagala.—Abeefeso 5:25-29.
Bw’oba ng’oli mukyala mu maka, Yakuwa ayagala osse ekitiibwa mu mwami wo, era omuyambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. (1 Abakkolinso 11:3; Abeefeso 5:33) Muwagire mu ebyo by’aba asazeewo era okolere wamu naye okubituukiriza. (Abakkolosaayi 3:18) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba wa muwendo nnyo eri omwami wo n’eri Yakuwa.—1 Peetero 3:1-6.
BY’OYINZA OKUKOLA:
Buuza mukyala wo oba omwami wo bye weetaaga okukola okusobola okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi. Wuliriza bulungi ng’akuddamu, era ofube okulongoosaamu we kyetaagisa
Beera mugumiikiriza. Buli omu ku mmwe kiyinza okumutwalira ekiseera okumanya ebisanyusa munne
2 FAAYO KU NNEEWULIRA YA MUNNO
BAYIBULI KY’EGAMBA: Faayo nnyo ku ebyo ebisanyusa munno. (Abafiripi 2:3, 4) Munno mu bufumbo mutwale nga wa muwendo nnyo, era kijjukire nti Yakuwa ayagala tube ‘bakkakkamu eri bonna.’ (2 Timoseewo 2:24) Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga talowoozezza ebigambo bye bifumita ng’ekitala, naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” (Engero 12:18, NW) N’olwekyo, lowooza ku bigambo by’oba ogenda okwogera, oleme kulumya munno. Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okukuyamba okwoleka ekisa n’okwagala.—Abaggalatiya 5:22, 23; Abakkolosaayi 4:6.
BY’OYINZA OKUKOLA:
Bw’oba olina ensonga enkulu gy’ogenda okukubaganyaako ebirowoozo ne munno, saba Katonda akuyambe okusigala ng’oli mukkakkamu n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu
Lowooza ku ekyo ky’oba ogenda okwogera n’engeri gy’onookyogeramu
3 MUKOLERE WAMU
BAYIBULI KY’EGAMBA: Bwe mufumbiriganwa, mufuuka “omubiri gumu.” (Matayo 19:5) Naye era musigala muli bantu babiri era muyinza okuba n’endowooza ez’enjawulo ku bintu ebimu. N’olwekyo, kibeetaagisa okuteesa okusobola okuba n’endowooza emu. (Abafiripi 2:2) Ekyo kikulu nnyo bwe muba mulina kye mwagala okusalawo. Bayibuli egamba nti: ‘Buli kigambo kinywezebwa na kuteesa.’ (Engero 20:18) Bwe muba mulina ensonga enkulu gye mwagala okusalawo, mukolere ku magezi agali mu Bayibuli.—Engero 8:32, 33.
BY’OYINZA OKUKOLA:
Munno tokoma ku kumubuulira by’olowooza, naye mubuulire ne bw’owulira
Weebuuze ku munno nga tonnabaako ky’osalawo
^ lup. 4 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.