Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zeffaniya 3:1-20

EBIRIMU

  • Yerusaalemi, ekibuga ekijeemu era ekyonoonefu (1-7)

  • Okusalirwa omusango n’okuzzibwawo (8-20)

    • Okuweebwa olulimi olulongoofu (9)

    • Abantu abeetoowaze era abawombeefu balirokolebwa (12)

    • Yakuwa ajja kusanyukira Sayuuni (17)

3  Zikisanze ekibuga ekijeemu, ekyonoonefu, era ekiyisa obubi abantu baakyo!+   Tekyawuliriza ddoboozi lyonna;+ era tekyakkiriza kubuulirirwa.+ Tekyesiga Yakuwa,+ era tekyasemberera Katonda waakyo.+   Abaami baamu mpologoma eziwuluguma.+ Abalamuzi baamu misege egy’akawungeezi;Tebafissaawo wadde eggumba ery’okumeketa okutuusa ku makya.   Bannabbi baakyo ba malala era bakuusa.+ Bakabona baakyo boonoona ebitukuvu;+Bamenya amateeka.+   Yakuwa mutuukirivu era abeera mu kyo;+ takola bintu bikyamu. Buli ku makya alangirira obwenkanya bwe.+ Okufaananako ekitangaala eky’oku makya, tebubulawo. Naye atali mutuukirivu takwatibwa nsonyi.+   “Nnazikiriza amawanga, era eminaala gyago egy’oku nsonda gyasaanawo. Nnayonoona enguudo zaago ne wataba n’omu aziyitamu. Ebibuga byago byasigala matongo nga tewali muntu abibeeramu.+   Nnagamba ekibuga nti, ‘Mazima ojja kuntya; ojja kukkiriza okukangavvulwa,’*+Ekifo kyakyo ekibeerwamu kireme kusaanawo+—Nteekwa okukivunaana* olw’ebintu ebyo byonna. Naye beeyongera bweyongezi okwagala ennyo okukola ebintu ebibi.+   Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Kale munnindirire*+Okutuusa ku lunaku lwe ndijja okutwala omunyago,*Kubanga nsazeewo okukuŋŋaanya amawanga, okukuŋŋaanya obwakabaka,Mbafukeko ekiruyi kyange, mbafukeko obusungu bwange bwonna obubuubuuka;+Kubanga obusungu bwange bulinga omuliro ogulyokya ensi yonna.+   Mu kiseera ekyo ndikyusa olulimi lw’amawanga ne ngawa olulimi olulongoofu,Gonna gasobole okukoowoola erinnya lya Yakuwa,Era gamuweereze* nga gali bumu.’+ 10  Abantu bange abaasaasaana, abo abanneegayirira,Baliva mu kitundu ky’emigga gya Esiyopiya ne bandeetera ekirabo.+ 11  Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyiOlw’ebyo byonna bye wakola n’onjeemera,+Kubanga ndiggya mu ggwe ab’amalala abeewaana;Era toliddamu kuba na malala ku lusozi lwange olutukuvu.+ 12  Ndireka mu ggwe abantu abeetoowaze era abawombeefu,+Era balifuna obuddukiro mu linnya lya Yakuwa. 13  Abantu ba Isirayiri abalisigalawo+ tebalikola bitali bya butuukirivu;+Tebalirimba, era mu kamwa kaabwe temulibaamu lulimi lukuusa;Balirya ne bagalamira, era tewaliba abatiisa.”+ 14  Yogerera waggulu n’essanyu ggwe muwala wa Sayuuni! Kuba emizira ggwe Isirayiri!+ Sanyuka era ojaganye n’omutima gwo gwonna ggwe muwala wa Yerusaalemi!+ 15  Yakuwa akuggyeeko emisango.+ Aggyeewo omulabe wo.+ Yakuwa kabaka wa Isirayiri ali wakati mu ggwe.+ Toliddamu kutya kabi.+ 16  Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti: “Totya ggwe Sayuuni.+ Toggwaamu maanyi. 17  Yakuwa Katonda wo ali wakati mu ggwe.+ Ajja kukulokola ng’omulwanyi omuzira. Ajja kukusanyukira era ajja kujaganya nnyo.+ Ajja kusirika olw’okuba ajja kuba mumativu olw’okukulaga okwagala. Ajja kukusanyukira ng’ayogerera waggulu n’essanyu. 18  Abo abali mu nnaku olw’obutaba ku mbaga zo ndibakuŋŋaanya;+Tebaali wamu naawe olw’okuba baali baweebuddwa ku lulwe.+ 19  Laba! Mu kiseera ekyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya;+Ndirokola oyo awenyera,+Era ndikuŋŋaanya abo abaasaasaanyizibwa.+ Ndibaleetera okutenderezebwa n’okuba n’ettutumu*Mu buli nsi mwe baaswazibwa. 20  Mu kiseera ekyo ndibakomyawo mmwe,Mu kiseera ekyo ndibakuŋŋaanya. Ndibaleetera okuba n’ettutumu* era n’okutenderezebwa+ mu mawanga gonna ag’omu nsi,Bwe ndikomyawo abawambe bammwe nga mulaba,” Yakuwa bw’agamba.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okuwabulwa.”
Oba, “okukibonereza.”
Oba, “munnindirire n’obugumiikiriza.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “lwe ndiyimuka ng’omujulirwa.”
Oba, “gamusinze.”
Obut., “n’erinnya.”
Obut., “n’erinnya.”