Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 96:1-13

EBIRIMU

  • “Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya”

    • Yakuwa agwana okutenderezebwa (4)

    • Bakatonda b’amawanga tebalina mugaso (5)

    • Musinze Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu (9)

96  Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya.+ Muyimbire Yakuwa mmwe ensi yonna!+   Muyimbire Yakuwa; mutendereze erinnya lye. Mulangirire amawulire amalungi ag’obulokozi bwe buli lunaku.+   Mulangirire ekitiibwa kye mu mawanga,Mulangirire ebikolwa bye eby’ekitalo mu bantu bonna.+   Yakuwa mukulu era agwanidde okutenderezebwa. Atiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.   Bakatonda bonna ab’amawanga tebalina mugaso,+Naye Yakuwa ye yakola eggulu.+   Ekitiibwa n’obulungi biri mu maaso ge;+Amaanyi n’obulungi biri mu kifo kye ekitukuvu.+   Mutendereze Yakuwa, mmwe ebika eby’amawanga;Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+   Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;+Muleete ekirabo, mujje mu mpya ze.   Muvunnamire* Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu;*Mukankanire mu maaso ge mmwe ensi yonna! 10  Mulangirire mu mawanga nti: “Yakuwa afuuse Kabaka!+ Ensi yanywezebwa, teyinza kusagaasagana. Ajja kulamula abantu mu bwenkanya.”+ 11  Eggulu ka lisanyuke, n’ensi k’ejaganye;Ennyanja n’ebigirimu byonna ka biwulugume;+ 12  Olukalu ne byonna ebiruliko ka bijaganye.+ N’emiti gyonna egy’omu kibira ka gireekaane olw’essanyu+ 13  Mu maaso ga Yakuwa, kubanga ajja;*Kubanga ajja okulamula ensi. Ajja kulamula ensi mu butuukirivu+Era ajja kulamula amawanga mu bwesigwa bwe.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Musinze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’ekitiibwa ky’obutukuvu bwe.”
Oba, “azze.”