Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 95:1-11

EBIRIMU

  • Okusinza okw’amazima kugendera wamu n’obuwulize

    • “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye” (7)

    • “Temukakanyaza mitima gyammwe” (8)

    • “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange” (11)

95  Mujje twogerere waggulu n’essanyu mu maaso ga Yakuwa! Ka tukubire Olwazi lwaffe olw’obulokozi emizira.+   Ka tugende mu maaso ge tumwebaze;+Ka tumuyimbire oluyimba olw’obuwanguzi.   Kubanga Yakuwa ye Katonda omukulu,Ye Kabaka omukulu asinga bakatonda abalala bonna.+   Ebitundu by’ensi ebya wansi biri mu mukono gwe;Entikko z’ensozi ye nnannyini zo.+   Ennyanja gye yakola yiye,+Era emikono gye gye gyakola olukalu.+   Mujje tusinze era tuvunname;Ka tufukamire mu maaso ga Yakuwa Omutonzi waffe.+   Kubanga ye Katonda waffe,Era tuli bantu ab’omu ddundiro lye,Endiga z’alabirira.*+ Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,+   Temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe baakola e Meriba,*+Nga bwe baakola ku lunaku lw’e Massa* mu ddungu,+   Bwe bangezesa;+Bangezesa, wadde nga baali balabye bye nnali nkoze.+ 10  Okumala emyaka 40 nneetamwa omulembe ogwo, era nnagamba nti: “Be bantu abawaba buli kiseera mu mitima gyabwe;Tebamanyi makubo gange.” 11  Kyennava nsunguwala ne ndayira nti: “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Endiga z’omukono gwe.”
Kitegeeza, “Okuyomba.”
Kitegeeza, “Okugezesa.”