Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 93:1-5

EBIRIMU

  • Obufuzi bwa Yakuwa obw’ekitiibwa

    • “Yakuwa afuuse Kabaka!” (1)

    • “By’otujjukiza byesigika” (5)

93  Yakuwa afuuse Kabaka!+ Ayambadde ekitiibwa;Yakuwa ayambadde amaanyi;Ageesibye ng’omusipi. Ensi nnywevu;Tesobola kuggibwa mu kifo.*   Entebe yo yanywezebwa dda nnyo;+Obaddewo emirembe gyonna.+   Emigga gibimbye, Ai Yakuwa,Emigga gibimbye era giwulugumye;Emigga gibimba era giyira.   Naye ggwe Ai Yakuwa ow’ekitiibwa ennyo mu ggulu,Oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;+Oli wa maanyi okusinga amayengo ag’amaanyi ag’oku nnyanja.+   Ebyo by’otujjukiza byesigika nnyo.+ Ai Yakuwa, obutukuvu bulabisa bulungi* ennyumba yo+ ebbanga lyonna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Tesobola kusagaasagana.”
Oba, “obutukuvu bugwanira.”