Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 88:1-18

EBIRIMU

  • Asaba Katonda amuwonye okufa

    • “Obulamu bwange buli ku mugo gwa ntaana” (3)

    • ‘Buli ku makya nkusaba’ (13)

Oluyimba, Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Makalasi.* Ya kuyimbibwa ng’ebirimu biyimbibwa mu mpalo. Masukiri* ya Kemani+ Omwezera. 88  Ai Yakuwa Katonda ow’obulokozi bwange,+Emisana nkukoowoola,N’ekiro nzija mu maaso go.+   Okusaba kwange ka kutuuke gy’oli,+Tega okutu owulire* okuwanjaga kwange.+   Kubanga ndi mu buyinike bwa maanyi,+Era obulamu bwange buli ku mugo gwa ntaana.+   Mbaliddwa mu abo abakka mu kinnya;*+Nfuuse omuntu ateesobola,*+   Alekeddwa mu bafuNg’abantu abattiddwa abagalamidde mu ntaana,B’otakyajjukiraEra b’otakyafaako.   Ontadde mu kinnya ekisingayo obuwanvu,Mu bifo ebikutte ekizikiza, mu bunnya obunene.   Obusungu bwo bunzitooweredde nnyo,+Ombuutikiza amayengo go ag’amaanyi. (Seera)   Ogobedde mikwano gyange wala okuva we ndi;Onfudde ekyenyinyaza gye bali.+ Omutego gunkutte era sisobola kuguvaamu.   Amaaso gange tegakyalaba bulungi olw’ennaku gye nnina.+ Ai Yakuwa, nkukoowoola okuzibya obudde;+Ngolola emikono gyange gy’oli. 10  Abafu b’onookolera ebyamagero? Abaafa basobola okusituka ne bakutendereza?+ (Seera) 11  Okwagala kwo okutajjulukuka kunaayogerwako emagombe? Obwesigwa bwo bunaayogerwako mu kifo eky’okuzikiririramu?* 12  Ebikolwa byo eby’ekitalo binaamanyibwa mu kizikiza? Oba obutuukirivu bwo bunaamanyibwa mu nsi y’abo abeerabirwa?+ 13  Naye nkyakuwanjagira, Ai Yakuwa,+Buli ku makya okusaba kwange kujja mu maaso go.+ 14  Ai Yakuwa, lwaki onjabulira?+ Lwaki onkweka obwenyi bwo?+ 15  Okuviira ddala mu buvubuka bwangeMbadde mu nnaku era nga mbulako katono okusaanawo;+Ndi mwennyamivu nnyo olw’ebintu ebibi by’oleka okuntuukako. 16  Obusungu bwo obubuubuuka bunsukkiriddeko;+Entiisa zo zinsaanyaawo. 17  Zinneetooloola ng’amazzi okuzibya obudde;Zinzingiza ku njuyi zonna.* 18  Mikwano gyange ne banywanyi bange obagobedde wala okuva we ndi;+Ekizikiza kye kifuuse munywanyi wange.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “ng’omuntu atalina maanyi.”
Oba, “mu Abaddoni.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “zinzingiza omulundi gumu.”