Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 85:1-13

EBIRIMU

  • Okusaba okuzzibwamu amaanyi

    • Katonda ajja kulangirira emirembe eri abo abeesigwa gy’ali (8)

    • Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa bijja kusisinkana (10)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba. 85  Ai Yakuwa, olaze ensi yo ekisa;+Okomezzaawo abaana ba Yakobo abaali batwaliddwa mu buwambe.+   Abantu bo obasonyiye ensobi zaabwe;Wabasonyiwa ebibi* byabwe byonna.+ (Seera)   Wafuga obusungu bwo bwonna;Waleka obusungu bwo obungi.+   Tuzzeewo,* Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe,Era toyongera kutunyiigira.+   Onootusunguwalira mirembe gyonna?+ Obusungu bwo bunaabanga ku buli mulembe ogunaddawo?   Toddemu kutuzzaamu maanyi,Abantu bo basanyuke olw’okubeera ggwe?+   Ai Yakuwa, tulage okwagala kwo okutajjulukuka,+Otulokole.   Nja kuwuliriza Yakuwa Katonda ow’amazima ky’anaagamba,Kubanga ajja kulangirira emirembe eri abantu be+ abeesigwa,Naye tebaddamu okwekakasa ekisukkiridde.+   Mazima ddala obulokozi bwe buli kumpi n’abo abamutya,+Ekitiibwa kye kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe. 10  Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa bijja kusisinkana;Obutuukirivu n’emirembe bijja kunywegeragana.+ 11  Obwesigwa bujja kumeruka mu nsi,N’obutuukirivu bujja kuyima mu ggulu butunule wansi.+ 12  Ddala Yakuwa ajja kutuwa ebirungi,+Era ensi yaffe ejja kuleeta ekyengera kyayo.+ 13  Obutuukirivu bujja kutambulira mu maaso ge,+Bukolere ebigere bye ekkubo.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Wabikka ku bibi.”
Oba, “Ddamu otukuŋŋaanye.”