Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 84:1-12

EBIRIMU

  • Okwagala ennyo weema ya Katonda ey’ekitiibwa

    • Omuleevi ayagala okuba ng’ekinyonyi (3)

    • “Olunaku olumu mu mpya zo” (10)

    • “Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe” (11)

Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Gittisu.* Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba. 84  Weema yo ey’ekitiibwa nga njaagala nnyo,+Ai Yakuwa ow’eggye!   Nzenna njayaana,Nyenjebuse olw’okwegombaEmpya za Yakuwa.+ Omutima gwange n’omubiri gwange byogerera waggulu n’essanyu eri Katonda omulamu.   N’ekinyonyi kifunayo aw’okubeera,Era n’akataayi kazimbayo ekisuMwe kalabiririra obwana bwako,Okumpi n’ekyoto kyo eky’ekitalo, Ai Yakuwa ow’eggye,Kabaka wange era Katonda wange!   Balina essanyu abo ababeera mu nnyumba yo!+ Beeyongera okukutendereza.+ (Seera)   Balina essanyu abo abafuna amaanyi okuva gy’oli,+Abatadde emitima gyabwe ku makubo agagenda ku nnyumba yo.   Bwe bayita mu Kiwonvu kya Bakka,Bakifuula ekifo eky’ensulo;Era enkuba esooka ekiyiira emikisa.*   Amaanyi gajja kubeeyongera bweyongezi+ nga batambula;Buli omu ku bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.   Ai Yakuwa Katonda ow’eggye, wulira okusaba kwange;Wuliriza, Ai Katonda wa Yakobo. (Seera)   Tunula, ggwe engabo yaffe+ era Katonda waffe,*Tunuulira amaaso g’oyo gwe wafukako amafuta.+ 10  Olunaku olumu mu mpya zo lusinga ennaku olukumi mu kifo ekirala kyonna!+ Nnondawo okuyimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Katonda wangeOkusinga okubeera mu weema z’ababi. 11  Kubanga Yakuwa Katonda ye njuba yaffe+ era ye ngabo yaffe;+Alaga ekisa era agaba ekitiibwa. Yakuwa talina kirungi kyonna ky’ammaAbo abatambulira mu bugolokofu.+ 12  Ai Yakuwa ow’eggye,Alina essanyu oyo akwesiga.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era omuyigiriza yeezingirira emikisa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Tunuulira engabo yaffe, Ai Katonda.”