Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 76:1-12

EBIRIMU

  • Katonda awangula abalabe ba Sayuuni

    • Katonda alokola abawombeefu (9)

    • Abalabe ab’amalala bajja kutoowazibwa (12)

Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.+ Oluyimba. 76  Katonda amanyiddwa mu Yuda;+Erinnya lye kkulu mu Isirayiri.+   Ekifo kye ky’awummuliramu kiri mu Saalemi,+Era ekifo ky’abeeramu kiri mu Sayuuni.+   Eyo gye yamenyera obusaale obwaka,Engabo n’ekitala n’eby’okulwanyisa ebirala.+ (Seera)   Omasamasa nnyo;*Oli wa kitiibwa okusinga ensozi ezijjudde ensolo eziyiggibwa.   Abazira baanyagibwako ebyabwe.+ Beebase otulo,Abalwanyi bonna tebaasobola kwerwanako.+   Ai Katonda wa Yakobo, bwe wakangamu oti,Embalaasi n’omuvuzi w’eggaali ne beebaka otulo.+   Ggwe wekka ow’entiisa.+ Ani ayinza okugumira obusungu bwo obungi?+   Wayima mu ggulu n’olangirira omusango gwe wasala;+Ensi yatya era n’esirika+   Katonda bwe yasituka okutuukiriza omusango gwe yasala,Okulokola abawombeefu bonna ab’omu nsi.+ (Seera) 10  Obusungu bw’abantu bulikuleetera ettendo;+Olyambala obusungu bwabwe obuliba busigaddewo. 11  Mweyame eri Yakuwa Katonda wammwe, era musasule bye mweyamye,+Abo bonna abamwetoolodde ka baleete ekirabo kyabwe nga batya.+ 12  Alikkakkanya amalala g’abakulembeze;*Aleetera bakabaka b’ensi entiisa.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Obuutikiddwa ekitangaala.”
Obut., “omwoyo gw’abakulembeze.”