Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 72:1-20

EBIRIMU

  • Obufuzi obw’emirembe obwa kabaka Katonda gw’ataddewo

    • “Abatuukirivu banaamerukanga” (7)

    • “Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja” (8)

    • Anaawonyanga abantu ebikolwa eby’obukambwe (14)

    • Emmere ey’empeke ejja kuba nnyingi mu nsi (16)

    • Erinnya lya Katonda litenderezebwa emirembe gyonna (19)

Ekwata ku Sulemaani. 72  Ai Katonda, yigiriza kabaka okulamula,N’omwana wa kabaka muwe obutuukirivu bwo.+   K’awolerezenga abantu bo mu butuukirivu,Era awolerezenga abantu bo abanaku mu bwenkanya.+   Ensozi ka zireeterenga abantu emirembe,N’obusozi buleetenga obutuukirivu.   K’alwanirirenga* abanaku mu bantu,Alokolenga abaana b’abaavu,Asaanyengawo abakumpanya.+   Banaakutyanga ebbanga lyonna enjuba ly’eneemala nga weeriN’ebbanga lyonna omwezi lye gunaamala nga weeguli,Emirembe n’emirembe.+   Anaabanga ng’enkuba etonnya ku muddo ogusaayiddwa,Ng’enkuba efukirira ensi.+   Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka,+Era emirembe ginaabanga mingi nnyo+ okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo.   Anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanjaN’okuva ku Mugga* okutuuka ensi gy’ekoma.+   Ababeera mu ddungu banaamuvunnamiranga,N’abalabe be banaakombanga enfuufu.+ 10  Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga banaaleetanga amakula.+ Bakabaka b’e Seba n’ab’e Seeba banaaleetanga ebirabo.+ 11  Bakabaka bonna banaamuvunnamiranga,N’amawanga gonna ganaamuweerezanga. 12  Kubanga anaanunulanga abaavu abawanjaga,N’abanaku era na buli atalina amuyamba. 13  Anaasaasiranga abanaku n’abaavu,Era anaawonyanga obulamu bw’abaavu. 14  Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe,Era omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo nnyo mu maaso ge. 15  K’awangaale era aweebwenga zzaabu ow’e Seba.+ Ka bamusabirenga buli kiseera. Era ka bamwagalizenga emikisa okuzibya obudde. 16  Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi;+Eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi. Ebirime bye binaatintanga ng’emiti gy’omu Lebanooni,+Era mu bibuga abantu banaabangamu bangi ng’ebimera eby’omu nsi.+ 17  Erinnya lye ka libeerewo emirembe n’emirembe;+Ka litutumuke ebbanga lyonna enjuba ly’eneemala nga weeri. Abantu ka bafunenga omukisa okuyitira mu ye;+Amawanga gonna ka gamuyitenga musanyufu. 18  Yakuwa Katonda atenderezebwe, Katonda wa Isirayiri,+Oyo yekka akola ebintu eby’ekitalo.+ 19  Erinnya lye ery’ekitiibwa ka litenderezebwenga emirembe n’emirembe,+Era ekitiibwa kye ka kijjule ensi yonna.+ Amiina era Amiina. 20  Wano essaala za Dawudi, mutabani wa Yese, we zikoma.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “K’alamulenga.”
Omugga Fulaati.