Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 67:1-7

EBIRIMU

  • Ensi yonna ejja kutya Katonda

    • Ekkubo lya Katonda lijja kumanyika (2)

    • ‘Abantu bonna ka batendereze Katonda’ (3, 5)

    • “Katonda anaatuwanga omukisa” (6, 7)

Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba. 67  Katonda ajja kutukwatirwa ekisa atuwe omukisa;Ajja kukiraga nti atusiima+ (Seera)   Ekkubo lyo liryoke limanyike mu nsi yonna,+Ebikolwa byo eby’obulokozi bimanyike mu mawanga gonna.+   Abantu ka bakutendereze, Ai Katonda;Abantu bonna ka bakutendereze.   Amawanga ka gasanyuke era googerere waggulu n’essanyu,+Kubanga ojja kulamula abantu mu bwenkanya.+ Ojja kuluŋŋamya amawanga ag’omu nsi. (Seera)   Abantu ka bakutendereze, Ai Katonda;Abantu bonna ka bakutendereze.   Ensi ejja kubaza emmere;+Katonda, Katonda waffe, ajja kutuwa omukisa.+   Katonda anaatuwanga omukisa,Era abantu mu nsi yonna banaamutyanga.*+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “banaamuwanga ekitiibwa.”