Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 59:1-17

EBIRIMU

  • Katonda, ngabo era kiddukiro

    • ‘Ab’enkwe tobasaasira’ (5)

    • “Nja kuyimba ku maanyi go” (16)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* Sawulo bwe yatuma abasajja okugenda okuketta ennyumba ya Dawudi bamutte.+ 59  Ai Katonda, mponya abalabe bange;+Ntaasa abo abannwanyisa.+   Mponya abo abakola ebitali bya butuukirivu,Mponya abasajja abatemu.   Laba! Banteega;+Abasajja ab’amaanyi bannumba,Naye si lwa kuba nti njeemye oba nti nnyonoonye,+ Ai Yakuwa.   Wadde nga sirina kikyamu kye nnakola, badduka ne bateekateeka okunnumba. Bwe nkukoowoola, golokoka olabe.   Kubanga ggwe, Ai Yakuwa Katonda ow’eggye, ggwe Katonda wa Isirayiri.+ Golokoka okebere amawanga gonna. Ab’enkwe era ab’ettima tobasaasira.+ (Seera)   Bakomawo buli kawungeezi;+Baboggola ng’embwa+ era batambulatambula mu kibuga.+   Laba ebiva mu kamwa kaabwe;Emimwa gyabwe giringa ebitala,+Bagamba nti: “Ani awulira?”+   Naye ggwe, Ai Yakuwa, ojja kubasekerera;+Ojja kunyoomoola amawanga gonna.+   Ai Amaanyi gange, nja kutunuulira ggwe;+Kubanga Katonda kye kiddukiro kyange.+ 10  Katonda andaga okwagala okutajjulukuka ajja kunnyamba;+Katonda ajja kundeetera okulaba okugwa kw’abalabe bange.+ 11  Tobatta, abantu bange baleme kwerabira. Kozesa amaanyi go obaleetere okubundabunda;Ai Yakuwa engabo yaffe, baleetere okugwa.+ 12  Olw’okwonoona kw’akamwa kaabwe, olw’ebigambo by’emimwa gyabwe,Amalala gaabwe ka gabasuule mu mutego,+Olw’okukolima n’okulimba olutatadde. 13  Basaanyeewo mu busungu bwo;+Basaanyeewo baggwerewo ddala;Baleetere okukimanya nti Katonda y’afuga mu Yakobo n’okutuuka ensi gy’ekoma.+ (Seera) 14  Ka bakomewo akawungeezi;Ka baboggole ng’embwa era batambuletambule mu kibuga.+ 15  Ka babungeete nga banoonya eky’okulya;+Tobakkiriza kukkuta wadde okufuna aw’okusula. 16  Naye nze nja kuyimba ku maanyi go;+Ku makya nja kwogera n’essanyu ku kwagala kwo okutajjulukuka. Kubanga ggwe kiddukiro kyange+Era ekifo mwe nzirukira nga ndi mu buzibu obw’amaanyi.+ 17  Ai Amaanyi gange, nja kukuyimbira ennyimba ezikutendereza,+Kubanga Katonda kye kiddukiro kyange, Katonda andaga okwagala okutajjulukuka.+

Obugambo Obuli Wansi