Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 58:1-11

EBIRIMU

  • Waliwo Katonda alamula ensi

    • Okusaba ababi babonerezebwe (6-8)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* 58  Musobola okwogera ku butuukirivu nga musirise?+ Musobola okulamula mu bwenkanya, mmwe abaana b’abantu?+   Mu kifo ky’okukola bwe mutyo, mugunja ebitali bya butuukirivu mu mitima gyammwe,+Era emikono gyammwe gibunyisa ebintu eby’akabi mu nsi.+   Ababi bakwata ekkubo ekkyamu* okuva lwe bazaalibwa;*Baba bajeemu era balimba okuva lwe bazaalibwa.   Obusagwa bwabwe bulinga obusagwa bw’emisota;+Baggavu b’amatu ng’enswera eziba amatu gaayo.   Tewulira ddoboozi ly’abalogo,Ne bwe baba bakugu batya mu by’obulogo.   Ai Katonda, wangula amannyo mu kamwa kaabwe! Ai Yakuwa, menya emba z’empologoma zino!   Ka baggweewo ng’amazzi agakulukuta ne gagenda. Katonda k’awete omutego gwe abakube obusaale bagwe.   Ka babeere ng’ekkovu eritambula nga bwe lisaanuuka;Ka babeere ng’omwana azaalibwa ng’afudde n’atalaba ku njuba.   Ng’entamu zo tezinnayitamu muliro gw’akati ak’amaggwa,Katonda ajja kuggyawo ettabi ebbisi n’eryo eryaka, bibe ng’ebitwalibwa omuyaga.+ 10  Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’okulaba okuwoolera eggwanga okwo.+ Ebigere bye bijja kutotobala omusaayi gw’ababi.+ 11  Abantu bajja kugamba nti: “Mazima ddala, omutuukirivu aweebwa empeera.+ Ddala waliwo Katonda asala omusango mu nsi.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “baba boonoonefu.”
Obut., “okuva nga bakyali mu lubuto.”