Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 57:1-11

EBIRIMU

  • Okusaba okukwatirwa ekisa

    • Okuddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Katonda (1)

    • Abalabe bagwa mu mitego gyabwe (6)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Mikutamu.* Bwe yali mu mpuku+ ng’adduse Sawulo. 57  Nkwatirwa ekisa, Ai Katonda, nkwatirwa ekisa,Kubanga nzirukira gy’oli;+Nzirukira mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa ng’akabi kavuddewo.+   Nkoowoola Katonda Asingayo Okuba Waggulu,Nkoowoola Katonda ow’amazima anzigya mu mitawaana.   Ajja kuweereza obuyambi okuva mu ggulu, andokole.+ Ajja kulemesa oyo annumba. (Seera) Katonda ajja kulaga okwagala kwe okutajjulukuka awamu n’obwesigwa bwe.+   Nneetooloddwa empologoma;+Ngalamidde mu bantu abaagala okundya,Abalina amannyo agalinga amafumu n’obusaale,Era abalina olulimi olulinga ekitala ekyogi.+   Ogulumizibwe okusinga eggulu, Ai Katonda;Ekitiibwa kyo ka kibeere ku nsi yonna.+   Baatega ekitimba okukwasa ebigere byange;+Nkutaamiridde olw’ennaku.+ Baasima ekinnya mu kkubo lyange;Naye bo bennyini baakigwamu.+ (Seera)   Omutima gwange munywevu, Ai Katonda,+Omutima gwange munywevu. Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza.   Zuukuka ggwe ekitiibwa kyange. Zuukuka ggwe ekivuga eky’enkoba; naawe entongooli. Nja kuzuukusa emmambya.+   Ai Yakuwa, nja kukutenderereza mu bantu;+Nja kukuyimbira mu mawanga ennyimba ezikutendereza.+ 10  Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kungi nnyo, kuli waggulu nnyo ng’eggulu,+N’obwesigwa bwo butuukira ddala ku bire. 11  Ogulumizibwe okusinga eggulu, Ai Katonda;Ekitiibwa kyo ka kibeere ku nsi yonna.+

Obugambo Obuli Wansi