Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 54:1-7

EBIRIMU

  • Essaala y’oyo ali wakati mu balabe

    • “Katonda ye muyambi wange” (4)

Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi. Abaziifu bwe baagenda ne bagamba Sawulo nti: “Dawudi yeekwese mu ffe.”+ 54  Ai Katonda, ndokola ogulumize erinnya lyo,+Nnwanirira+ ng’okozesa amaanyi go.   Ai Katonda, wulira okusaba kwange;+Wuliriza ebigambo ebiva mu kamwa kange.   Kubanga abalabe* bannumba,Abantu abakambwe baagala okusaanyaawo obulamu bwange.+ Tebawa Katonda kitiibwa.*+ (Seera)   Laba! Katonda ye muyambi wange;+Yakuwa ali n’abo abannyamba.   Abalabe bange ajja kubasasula+ ng’abaddiza ebibi bye bakola abalala. Olw’obwesigwa bwo bazikirize.*+   Nja kuwaayo ssaddaaka gy’oli+ kyeyagalire. Ai Yakuwa, nja kutendereza erinnya lyo, olw’okuba ddungi.+   Kubanga ondokola mu buzibu bwonna bwe mbaamu.+ Nja kutunuulira abalabe bange nga njaganya.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abantu be simanyi.”
Oba, “Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe.”
Obut., “basirise.”