Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 52:1-9

EBIRIMU

  • Okwesiga okwagala kwa Katonda okutajjulukuka

    • Abeenyumiririza mu bintu ebibi balabulwa (1-5)

    • Ababi beesiga bya bugagga (7)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi; Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti Dawudi yali agenze mu nnyumba ya Akimereki.+ 52  Ggwe ow’amaanyi, lwaki weenyumiririza mu bikolwa byo ebibi?+Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kubaawo okuzibya obudde.+   Olulimi lwo olwogi ng’akamweso+Lusala enkwe era luyiiya eby’obulimba.+   Oyagala ebibi okusinga ebirungi,Oyagala okulimba okusinga okwogera ebituufu. (Seera)   Oyagala buli kigambo eky’akabi,Ai ggwe olulimi olulimba!   Katonda kyanaava akusika n’akusuulira ddala wansi;+Ajja kukukwakkula era akusikambule mu weema yo;+Ajja kukusimbula mu nsi y’abalamu.+ (Seera)   Abatuukirivu bajja kukiraba bawuniikirire,+Era bajja kusekerera omukozi w’ebibi.+   “Omuntu ono teyafuula Katonda kiddukiro kye,*+Naye yeesiga obugagga bwe obungi,+Era yeesiga enkwe z’asala.”*   Naye nze nja kuba ng’omuzeyituuni ogunyirira oguli mu nnyumba ya Katonda;Obwesige bwange buli mu kwagala kwa Katonda okutajjulukuka,+ emirembe n’emirembe.   Nnaakutenderezanga emirembe n’emirembe olw’ebyo by’okoze;+Mu maaso g’abantu bo abeesigwa,Nnaasuubiriranga mu linnya lyo,+ kubanga ky’okoze kirungi.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “kigo kye.”
Obut., “yeesiga ebizibu by’aleeta.”