Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 50:1-23

EBIRIMU

  • Katonda alamula abo abamwesiga n’ababi

    • Abakola endagaano ne Katonda okuyitira mu ssaddaaka (5)

    • “Katonda ye Mulamuzi” (6)

    • Ensolo zonna za Katonda (10, 11)

    • Katonda ayogera ku bikolwa by’omubi (16-21)

Zabbuli ya Asafu.+ 50  Yakuwa Katonda wa bakatonda+ ayogedde;Ayita ensiOkuva ebuvanjuba okutuukira ddala ebugwanjuba.   Katonda ayakaayakanira mu Sayuuni, awaatuukirira mu kulabika obulungi.+   Katonda waffe ajja kujja, era tajja kusirika.+ Mu maaso ge waliwo omuliro ogusaanyaawo,+Era yeetooloddwa omuyaga ogukunta.+   Ayita eggulu n’ensi,+Alamule abantu be:+   “Nkuŋŋaanyiza abeesigwa gye ndi,Abo abakola nange endagaano okuyitira mu ssaddaaka.”+   Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe,Kubanga Katonda ye Mulamuzi.+ (Seera)   “Muwulirize mmwe abantu bange, nange nnaayogera;Isirayiri nja kukulumiriza.+ Nze Katonda, Katonda wo.+   Sikunenya lwa ssaddaaka zo,Wadde olw’ebiweebwayo byo ebyokebwa ebibeera mu maaso gange bulijjo.+   Tekinneetaagisa kuggya nte nnume mu kiraalo kyo,Wadde embuzi* mu bisibo byo.+ 10  Kubanga ensolo zonna ez’omu nsiko zange,+Ensolo zonna eziri ku nsozi olukumi. 11  Mmanyi ebinyonyi byonna ebibeera mu nsozi;+Ensolo ez’oku ttale ezitabalika zange. 12  Ne bwe nnandibadde nnumwa enjala, sandikubuulidde,Kubanga ensi ne byonna ebigiriko byange.+ 13  Nnaalya ennyama y’enteNe nnywa n’omusaayi gw’embuzi?+ 14  Weebaze Katonda ekyo kibeere nga ssaddaaka gy’owaayo gy’ali,+Sasula oyo Asingayo Okuba Waggulu ebyo bye weeyama;+ 15  Onkoowoolanga ng’oli mu buzibu.+ Nnaakununulanga, naawe onongulumizanga.”+ 16  Naye Katonda ajja kugamba omubi nti: “Ani eyakuwa olukusa okwogera ku mateeka gange,+Oba okwogera ku ndagaano yange?+ 17  Toyagala kukangavvulwa,*Era ebigambo byange obisuula muguluka.*+ 18  Bw’olaba omubbi, omuwagira,*+Era oyita wamu n’abenzi. 19  Akamwa ko okakozesa okusaasaanya ebibi. Olulimi lwo olukozesa okwogera eby’obulimba.+ 20  Otuula n’oyogera ku muganda wo;+Obikkula ensobi z’omwana* wa nnyoko. 21  Bwe wakola ebintu ebyo nnasirika,N’olowooza nti nja kuba nga ggwe. Naye kaakano nja kukunenya,Era nja kukulaga ensobi zo.+ 22  Mulowooze ku ekyo mmwe abeerabira Katonda,+Nneme kubayuzaayuza nga tewali abataasa. 23  Oyo awaayo gye ndi okwebaza nga ssaddaaka, angulumiza;+Oyo amalirira okutambulira mu kkubo ettuufu,Ajja kulaba obulokozi obuva gye ndi.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “embuzi ennume.”
Oba, “kuyigirizibwa.”
Obut., “obisuula mabega wo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “omwegattako.”
Oba, “Oyonoona erinnya ly’omwana.”