Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 45:1-17

EBIRIMU

  • Embaga ya kabaka eyafukibwako amafuta

    • “Ebigambo eby’ekisa” (2)

    • “Katonda ye ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe” (6)

    • Kabaka ayagala okutunula ku bulungi bw’omugole we (11)

    • Batabani bo bajja kuba baami mu nsi yonna (16)

Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga.” Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Masukiri.* Oluyimba olw’okwagala. 45  Omutima gwange gubuguumiridde olw’ekintu ekirungi. Ŋŋamba nti: “Oluyimba lwange lukwata* ku kabaka.”+ Olulimi lwange ka lubeere ng’ekkalaamu+ y’omukoppolozi* omukugu.+   Ggwe asinga abaana b’abantu bonna okulabika obulungi. Ebigambo eby’ekisa bikulukuta okuva ku mimwa gyo.+ Eyo ye nsonga lwaki Katonda akuwadde omukisa ogw’emirembe n’emirembe.+   Weesibe ekitala kyo+ mu kiwato, ggwe ow’amaanyi,+Mu kitiibwa kyo n’obulungi bwo.+   Mu kitiibwa kyo genda owangule;+Weebagale embalaasi yo olw’amazima n’obwetoowaze n’obutuukirivu,+Omukono gwo ogwa ddyo gujja kukola* ebintu ebiwuniikiriza.   Obusaale bwo bwogi, buleetera abantu okugwa mu maaso go;+Bufumita emitima gy’abalabe ba kabaka.+   Katonda ye ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;+Ddamula y’obwakabaka bwo ya bwenkanya.+   Wayagala obutuukirivu+ n’okyawa ebintu ebibi.+ Eyo ye nsonga lwaki Katonda, Katonda wo, yakufukako amafuta+ ag’okusanyuka+ okusinga banno.   Ebyambalo byo byonna biwunya obuloosa bwa miira ne alowe ne kasiya;Ebivuga eby’enkoba ebivugira mu lubiri olunene oluyooyooteddwa n’amasanga bikusanyusa.   Bawala ba bakabaka be bamu ku bakyala b’owa ekitiibwa mu lubiri lwo. Nnaabakyala ayimiridde ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zzaabu ow’e Ofiri.+ 10  Wulira, ggwe omuwala; ssaayo omwoyo era otege okutu;Weerabire abantu bo n’ennyumba ya kitaawo. 11  Obulungi bwo bujja kusikiriza kabaka,Kubanga ye mukama wo,Kale muvunnamire. 12  Muwala wa Ttuulo alijja n’ekirabo;Abantu abasingayo obugagga balyagala okusiimibwa mu maaso go. 13  Munda mu lubiri,* muwala wa kabaka alina ekitiibwa kya maanyi;Ebyambalo bye bitonaatoneddwako zzaabu. 14  Ajja kuleetebwa eri kabaka ng’ayambadde ebyambalo ebirukiddwa obulungi. Banne embeerera abamugoberera bajja kuleetebwa mu maaso go. 15  Bajja kubaleetera mu ssanyu ne mu kujaganya;Bajja kuyingira mu lubiri lwa kabaka. 16  Batabani bo be bajja okudda mu kifo kya bajjajjaabo. Ojja kubafuula baami mu nsi yonna.+ 17  Emirembe gyonna eginaddawo nja kugimanyisa erinnya lyo.+ Eyo ye nsonga lwaki amawanga gajja kukutendereza emirembe n’emirembe.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Emirimu gyange gikwata.”
Oba, “y’omuwandiisi.”
Obut., “kukuyigiriza.”
Obut., “nnyumba.”