Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 40:1-17

EBIRIMU

  • Okwebaza Katonda atageraageranyizika

    • Emirimu gya Katonda mingi nnyo tegisobola kubalika (5)

    • Ssaddaaka si ze zisinga obukulu eri Katonda (6)

    • “Nsanyukira okukola by’oyagala” (8)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 40  Nnalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza,Era yatega okutu n’awulira* okuwanjaga kwange.+   Yanzigya mu kinnya omwali amazzi agayira,Yanzigya mu bitosi. Ebigere byange yabiteeka ku lwazi;Yantambuliza awagumu.   Era yateeka oluyimba olupya mu kamwa kange,+Oluyimba olw’okutendereza Katonda waffe. Bangi baliraba ne bawuniikiriraEra baliteeka obwesige bwabwe mu Yakuwa.   Alina essanyu omuntu eyeesiga YakuwaEra ateesiga abo abawaganyavu oba abatali ba mazima.*   Ai Yakuwa Katonda wange,Bye wakola nga bingi,Ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebyo bye watutegekera.+ Tewali alinga ggwe;+Ne bwe nnandigezezzaako okubyogerako,Bisusse obungi, tebimalikayo!+   Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala,*+Naye waggula amatu gange nsobole okuwulira.+ Tewasaba biweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi.+   Awo ne ŋŋamba nti: “Laba, nzize. Kyampandiikibwako mu muzingo.*+   Ai Katonda wange, nsanyukira* okukola by’oyagala,+Era amateeka go gali munda mu nze.+   Nnangirira amawulire amalungi ag’obutuukirivu mu kibiina ekinene.+ Nga bw’okimanyi Ai Yakuwa,+Emimwa gyange sigikomako. 10  Obutuukirivu bwo sibubikkira mu mutima gwange. Nnangirira obwesigwa bwo n’obulokozi bwo. Sikweka kwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go nga ndi mu kibiina ekinene.”+ 11  Ai Yakuwa togaana kunsaasira. Okwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go ka binkuumenga buli kiseera.+ 12  Ebizibu ebinneetoolodde biyitiridde obungi, n’okubalika tebibalika.+ Ensobi zange ennyingi zinsukkiriddeko, tezikyaŋŋanya kulaba gye ŋŋenda;+Zisinga enviiri z’oku mutwe gwange obungi,Era mpeddemu amaanyi. 13  Ai Yakuwa, ndokola.+ Ai Yakuwa, yanguwa onnyambe.+ 14  Abo bonna abaagala okunzitaKa bakwatibwe ensonyi era baswale. Abo abasanyukira ennaku yangeKa baddeyo emabega nga bafeebezeddwa. 15  Abo abagamba nti: “Otyo!” Ka batye olw’okuswala. 16  Naye abo abakunoonya+Ka basanyuke era bajagulize mu ggwe,+Abo abaagala ebikolwa eby’obulokozi ka bulijjo bagambenga nti: “Yakuwa agulumizibwe.”+ 17  Naye nze ndi mwavu era seesobola;Yakuwa andowoozeeko. Ggwe annyamba era ggwe annunula;+Ai Katonda wange, tolwawo.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “yakutama okuwuliriza.”
Oba, “abalimba.”
Oba, “tewabisanyukira.”
Obut., “mu muzingo gw’ekitabo.”
Oba, “njagala nnyo.”