Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 39:1-13

EBIRIMU

  • Obulamu bumpi

    • Omuntu mukka bukka (5, 11)

    • “Tobuusa maaso maziga ge nkaaba” (12)

Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Yedusuni.*+ Zabbuli ya Dawudi. 39  Nnagamba nti: “Nja kwegenderezangaNneme kwonoona na lulimi lwange.+ Nja kusibanga emimwa gyange+Ng’omubi ali we ndi.”   Nnasirika ne soogera;+Nnabunira n’ekirungi ne sikyogerako,Naye obulumi bwange bwali bwa maanyi nnyo.*   Omutima gwange gwayaka mu nda yange. Bwe nnali ndowoolereza,* omuliro gweyongera okwaka. Awo olulimi lwange ne lwogera nti:   “Ai Yakuwa, nnyamba mmanye enkomerero yange bw’eriba,N’omuwendo gw’ennaku zange bwe guli,+Ndyoke mmanye obulamu bwange bwe buli obumpi.*   Ompadde obulamu bumpi;*+Ekiseera kye nnaawangaala tekirina bwe kiri mu maaso go.+ Mazima ddala buli muntu mukka bukka ne bw’aba wa maanyi atya.+ (Seera)   Obulamu bw’omuntu bulinga kisiikirize. Ateganira bwereere.* Atuuma obugagga nga tamanyi ani alibweyagaliramu.+   Ai Yakuwa, kati nsuubire ki? Ggwe wekka ggwe ssuubi lyange.   Ndokola okuva mu kwonoona kwange kwonna.+ Tokkiriza musirusiru kunfuula kya kusekererwa.   Nnasirika;Saayasamya kamwa kange+Kubanga kino ggwe wakikola.+ 10  Nzigyaako ekibonyoobonyo ky’ontaddeko. Nnyenjebuse olw’omukono gwo okunkuba. 11  Omuntu omugolola ng’omubonereza olw’ensobi ye;+Ng’ekiwuka bwe kisaanyaawo ebintu, naawe bw’osaanyaawo ebintu by’atwala ng’eby’omuwendo. Mazima ddala buli muntu mukka bukka.+ (Seera) 12  Wulira okusaba kwange Ai Yakuwa,Wuliriza okuwanjaga kwange.+ Tobuusa maaso maziga ge nkaaba. Kubanga ndi mugwira gy’oli,+Omutambuze ayita obuyisi,* nga bajjajjange bonna bwe baali.+ 13  Lekera awo okuntunuulira n’obusungu, nsobole okusanyukaNga sinnafa ne mba nga sikyaliwo.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “bweyongera.”
Oba, “nsinda.”
Oba, “nga bwe ndiwo akaseera obuseera.”
Obut., “obulamu obwenkana ng’obugazi bw’ekibatu.”
Obut., “Awogganira bwereere.”
Oba, “Omusenze.”