Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 35:1-28

EBIRIMU

  • Essaala ekwata ku kununulibwa mu mukono gw’abalabe

    • Abalabe bajja kugobebwa (5)

    • Okutendereza Katonda mu bantu abangi (18)

    • Okukyayibwa awatali nsonga (19)

Zabbuli ya Dawudi. 35  Ai Yakuwa, mpolereza nga mpoza n’abalabe bange;+Lwanyisa abo abannwanyisa.+   Kwata engabo yo entono* n’ennene,+Ojje onnyambe.+   Abo abankijjanya+ bagalulire effumu lyo n’embazzi yo.* Ŋŋamba nti: “Nze bulokozi bwo.”+   Abo abaagala okusaanyaawo obulamu bwange ka baswale era bafeebezebwe.+ Abo abasala enkwe okunzikiriza ka baddeyo emabega nga baswadde.   Ka babeere ng’ebisusunku ebitwalibwa embuyaga;Malayika wa Yakuwa k’abagobe.+   Ekkubo lyabwe ka libeemu enzikiza n’obuseerezi,Nga malayika wa Yakuwa abagoba.   Kubanga banteze ekitimba awatali nsonga;Bansimidde ekinnya awatali nsonga.   Akabi ka kabatuukeko nga tebamanyi;Ekitimba kye bateze ka kibakwase;Ka bakigwemu bazikirire.+   Naye nze nja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’akoze;Nja kujaganya olw’ebikolwa bye eby’obulokozi. 10  Amagumba gange gonna gajja kugamba nti: “Ai Yakuwa, ani alinga ggwe? Ateesobola omuwonya abamusinga amaanyi,+Ateesobola n’omunaku obawonya abo ababanyaga.”+ 11  Abajulizi ab’ettima bavaayo,+Ne bambuuza ebintu bye sirina kye mmanyiiko. 12  Mu birungi bansasulamu bibi,+Bandeetera okuwulira ng’afiiriddwa. 13  Naye bwe baali abalwadde, nnayambala ebibukutu;Nneerumya ne nsiiba,Era essaala zange bwe zitaddibwangamu,* 14  Nnatambulatambulanga nga nkungubaga ng’akungubagira mukwano gwange oba muganda wange;Nnakutama olw’ennaku ng’omuntu akungubagira nnyina. 15  Naye bwe nneesittala, baasanyuka ne bakuŋŋaana;Baakuŋŋaana wamu banteege bankube;Banjuzaayuza era tebaasirika. 16  Abatatya Katonda banduulira,Bannumira obugigi.+ 17  Ai Yakuwa, olituusa wa okutunula obutunuzi?+ Bwe bannumba, ntaasa.+ Obulamu bwange obw’omuwendo* butaase empologoma envubuka.+ 18  Kale nnaakwebazanga nga ndi mu kibiina ekinene;+Nnaakutenderezanga nga ndi mu bantu abangi. 19  Abo abankyawa awatali nsonga tobakkiriza kusanyukira nnaku yange;Abo abankyawa awatali nsonga+ tobakkiriza kuntunuuliza bunyoomi.+ 20  Kubanga teboogera bigambo bya mirembe;Naye bateesa eby’obulimba ku bantu ab’emirembe abali mu nsi.+ 21  Baasamya akamwa kaabwe okunvunaana,Nga bagamba nti: “Otyo! Amaaso gaffe gakirabye.” 22  Ai Yakuwa, okirabye. Tosirika.+ Ai Yakuwa, tombeera wala.+ 23  Golokoka; situka ontaase. Yakuwa Katonda wange, mpolereza mu musango gwe mpoza. 24  Ai Yakuwa Katonda wange, nnamula okusinziira ku butuukirivu bwo,+Tobakkiriza kusanyukira nnaku yange. 25  Ka baleme kugamba nti: “Otyo! Ekyo kye twali twagala.” Ka baleme kugamba nti: “Tumumize.”+ 26  Ka bonna baswale era bakwatibwe ensonyi,Abo abasanyukira obuyinike bwange. Abo abanneeguluumirizaako ka bambale obuswavu n’okufeebezebwa. 27  Naye abo abasanyuka olw’obutuukirivu bwange ka boogerere waggulu n’essanyu;Buli kiseera ka bagambe nti: “Yakuwa, oyo asanyuka okulaba ng’omuweereza we ali mu mirembe, agulumizibwe.”+ 28  Olwo olulimi lwange lunaayogeranga* ku butuukirivu bwo,+Era lunaakutenderezanga okuzibya obudde.+

Obugambo Obuli Wansi

Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Oba, “n’embazzi yo ey’emitwe ebiri.”
Oba, “bwe zaakomangawo mu kifuba kyange.”
Obut., “bwokka bwe nnina.”
Oba, “lunaafumiitirizanga.”