Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 34:1-22

EBIRIMU

  • Yakuwa anunula abaweereza be

    • “Ka tutenderereze wamu erinnya lye” (3)

    • Malayika wa Yakuwa akuuma (7)

    • “Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi” (8)

    • ‘Tewali na limu ku magumba ge limenyeddwa’ (20)

Zabbuli ya Dawudi; bwe yeefuula ng’omulalu+ ng’ali mu maaso ga Abimereki eyamugoba n’agenda. א [Alefu] 34  Nnaatenderezanga Yakuwa ekiseera kyonna;Ettendo lye linaabanga ku mimwa gyange buli kaseera. ב [Besu]   Nja kwenyumiririza mu Yakuwa;+Abawombeefu bajja kuwulira basanyuke. ג [Gimeri]   Mugulumize Yakuwa wamu nange;+Ka tutenderereze wamu erinnya lye. ד [Dalesi]   Nnasaba Yakuwa n’addamu okusaba kwange.+ Yamponya byonna ebyali bintiisa.+ ה [Ke]   Abo abaali bamwesiga baasanyuka;Tebaaswala. ז [Zayini]   Omunaku ono yakoowoola, Yakuwa n’amuwulira. Yamuwonya ennaku ye yonna.+ ח [Kesu]   Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo bonna abatya Katonda,+Era abanunula.+ ט [Tesu]   Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi;+Alina essanyu oyo addukira gy’ali. י [Yodi]   Mutye Yakuwa mmwe mmwenna abatukuvu be,Kubanga abo abamutya tebalina kye bajula.+ כ [Kafu] 10  Empologoma envubuka ez’amaanyi oluusi zirumwa enjala;Naye abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.+ ל [Lamedi] 11  Mujje baana bange mumpulirize;Nja kubayigiriza okutya Yakuwa.+ מ [Memu] 12  Ani ku mmwe ayagala obulamu,Era ayagala okuwangaala alabe ebirungi?+ נ [Nuni] 13  Kale ziyiza olulimi lwo luleme okwogera ebintu ebibi,+Ziyiza emimwa gyo gireme kwogera bya bulimba.+ ס [Sameki] 14  Weewale ebibi okolenga ebirungi;+Noonyanga emirembe era ogigobererenga.+ ע [Ayini] 15  Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu,+N’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.+ פ [Pe] 16  Naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebibi,Ajja kubazikiriza waleme kubaawo abajjukira ku nsi.+ צ [Sade] 17  Abatuukirivu baakoowoola Yakuwa n’abawulira;+Yabawonya ennaku yaabwe yonna.+ ק [Kofu] 18  Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese;+Alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.*+ ר [Lesu] 19  Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi,+Naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.+ ש [Sini] 20  Akuuma amagumba ge gonna;Tewali na limu ku go limenyeddwa.+ ת [Tawu] 21  Akabi kalitta ababi;Abo abakyawa abatuukirivu balibaako omusango. 22  Yakuwa anunula obulamu bw’abaweereza be;Tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibaako omusango.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abo abaweddemu amaanyi.”