Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 33:1-22

EBIRIMU

  • Okutendereza Omutonzi

    • “Mumuyimbire oluyimba oluggya” (3)

    • Ebintu byatondebwa olw’ekigambo kya Yakuwa n’olw’omwoyo gwe (6)

    • Eggwanga lya Yakuwa ssanyufu (12)

    • “Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya” (18)

33  Mmwe abatuukirivu mwogerere waggulu n’essanyu olw’ebyo Yakuwa by’akoze.+ Abagolokofu bagwanidde okumutendereza.   Mwebaze Yakuwa nga mumusunira entongooli;Mumuyimbire ennyimba ezitendereza nga bwe musuna ekivuga eky’enkoba ekkumi.   Mumuyimbire oluyimba olupya;+Musune bulungi ebivuga eby’enkoba nga bwe mwogerera waggulu n’essanyu.   Kubanga ekigambo kya Yakuwa kya mazima,+Era buli ky’akola kyesigika.   Ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.+ Ensi ejjudde okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka.+   Olw’ekigambo kya Yakuwa eggulu lyakolebwa,+N’olw’omukka gw’omu kamwa ke byonna ebiririmu byakolebwa.*   Akuŋŋaanya amazzi g’ennyanja ne gaba ng’ebbibiro;+Ateeka mu materekero amazzi aganjaala.   Ensi yonna k’etye Yakuwa.+ Abantu ababeera mu nsi ka bamuwe ekitiibwa.   Kubanga yayogera, ne bibaawo;+Yalagira, byonna ne binywera.+ 10  Yakuwa alemesezza entegeka z’amawanga;*+Agootaanyizza enteekateeka z’abantu.*+ 11  Naye ebyo Yakuwa by’ateekateeka bijja kubeerawo emirembe gyonna;+Ebirowoozo by’omu mutima gwe bibeerawo emirembe n’emirembe. 12  Lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo,+Abantu b’alonze okuba ababe.+ 13  Yakuwa ayima mu ggulu n’atunula wansi;N’alaba abaana b’abantu bonna.+ 14  Ayima mu kifo gy’abeeraN’atunuulira ababeera ku nsi. 15  Y’akola emitima gyabwe bonna;Akebera byonna bye bakola.+ 16  Tewali kabaka awonawo olw’okuba alina eggye ddene;+Omusajja ow’amaanyi tawonawo olw’okuba alina amaanyi mangi.+ 17  Okussa obwesige mu mbalaasi ng’osuubira nti esobola okukulokola* kuba kwerimba;+Amaanyi gaayo amangi tegasobola kukulokola. 18  Laba! Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya,+Abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka, 19  Okubanunula mu kufa,N’okubakuuma nga balamu mu kiseera eky’enjala.+ 20  Tulindirira Yakuwa. Y’atuyamba era ye ngabo yaffe.+ 21  Emitima gyaffe gisanyukira mu ye,Olw’okuba obwesige bwaffe tubutadde mu linnya lye ettukuvu.+ 22  Okwagala kwo okutajjulukuka ka kutubeereko, Ai Yakuwa,+Nga bwe tukulindirira.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “eggye lyabyo lyonna lyakolebwa.”
Oba, “okuteesa kw’amawanga.”
Oba, “ebirowoozo by’abantu.”
Oba, “okukuwa obuwanguzi.”