Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 32:1-11

EBIRIMU

  • Abo abasonyiyibwa ensobi baba basanyufu

    • “Nnakwatulira ekibi kyange” (5)

    • Katonda akuwa amagezi (8)

Zabbuli ya Dawudi. Masukiri.* 32  Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ensobi ye, oyo asonyiyiddwa ekibi kye.*+   Alina essanyu oyo Yakuwa gw’atwala nti taliiko musango,+Oyo alina omutima ogutaliimu bulimba.   Bwe nnasirika, amagumba gange gaggwerera olw’okuba nnali nsinda okuzibya obudde.+   Kubanga emisana n’ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga.+ Amaanyi gange gaakalira ng’amazzi bwe gakalira mu bbugumu eribaawo mu kiseera eky’omusana. (Seera)   Kyaddaaki nnakwatulira ekibi kyange,Saabikka ku nsobi yange.+ Nnagamba nti: “Nja kwatulira Yakuwa ebyonoono byange.”+ Era wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.+ (Seera)   Eyo ye nsonga lwaki buli muntu omwesigwa anaasabanga ggwe+Ng’okyayinza okufunika.+ Olwo n’amazzi aganjaala tegalimutuukako.   Oli kifo kyange eky’okwekwekamu;Ojja kunkuuma nneme kulaba nnaku.+ Ojja kunneetoolooza amaloboozi ag’essanyu ag’okulokolebwa.+ (Seera)   Wagamba nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu.+ Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.+   Tobeera ng’embalaasi oba ennyumbu etalina magezi,+Gy’olina okusooka okuteeka ekyuma mu kamwa n’enkoba mu kifuba okugikkakkanyaN’eryoka ejja w’oli.” 10  Ababi baba n’ebibaleetera obulumi bingi;Naye oyo eyeesiga Yakuwa okwagala kwe okutajjulukuka kumwetooloola.+ 11  Mmwe abatuukirivu musanyuke olw’ebyo Yakuwa by’akoze, era mujaganye;Mwogerere waggulu n’essanyu, mmwe mmwenna abalina omutima omugolokofu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “oyo ekibi kye ekibikkiddwako.”