Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 30:1-12

EBIRIMU

  • Essanyu lidda mu kifo ky’okukaaba

    • Katonda alaga omuntu ekisa obulamu bwe bwonna (5)

Oluyimba olw’okutongoza ennyumba. Zabbuli ya Dawudi. 30  Nnaakugulumizanga Ai Yakuwa, kubanga onnyimusizza;Tolese balabe bange kusanyukira nnaku yange.+   Ai Yakuwa Katonda wange, nnakukaabirira onnyambe era n’omponya.+   Ai Yakuwa, onzigye emagombe.*+ Onkuumye nga ndi mulamu; omponyezza okukka mu kinnya.*+   Muyimbire Yakuwa ennyimba ez’okutendereza mmwe abeesigwa gy’ali,+Mutendereze erinnya lye ettukuvu.*+   Kubanga omuntu amusunguwalira kaseera buseera,+Naye amulaga ekisa obulamu bwe bwonna.+ Akawungeezi wayinza okubaawo okukaaba, naye ku makya wabaawo okujaguza.+   Bwe nnali nga sirina kintawaanya nnagamba nti: “Sirisagaasagana.”*   Ai Yakuwa, wanfuula munywevu ng’olusozi bwe wandaga ekisa.+ Naye bwe wanneekweka nnatandika okutya.+   Ai Yakuwa, nnakukoowoolanga.+ Era nneegayirira Yakuwa andage ekisa.   Kigasa ki bwe nfa, bwe nzika mu kinnya?*+ Enfuufu eneekutendereza?+ Eneeyogera ku bwesigwa bwo?+ 10  Ai Yakuwa, mpuliriza ondage ekisa.+ Ai Yakuwa nnyamba.+ 11  Okukaaba kwange okufudde mazina;Onzigyeemu ebibukutu n’onnyambaza essanyu, 12  Ndyoke nnyimbe* nga nkutendereza era nneme kusirika. Ai Yakuwa Katonda wange nnaakutenderezanga emirembe gyonna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ntaana.”
Obut., “ekijjukizo kye.”
Oba, “Siritagala.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “Ekitiibwa kyange kiryoke kiyimbe.”