Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 29:1-11

EBIRIMU

  • Eddoboozi lya Yakuwa ery’amaanyi

    • Musinze Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu (2)

    • “Katonda ow’ekitiibwa awuluguma” (3)

    • Yakuwa awa abantu be amaanyi (11)

Zabbuli ya Dawudi. 29  Mutendereze Yakuwa, mmwe abaana b’ab’amaanyi,Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+   Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye. Muvunnamire* Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu.*   Eddoboozi lya Yakuwa liwulirwa waggulu w’amazzi;Katonda ow’ekitiibwa awuluguma.+ Yakuwa ali waggulu w’amazzi amangi.+   Eddoboozi lya Yakuwa lya maanyi;+Eddoboozi lya Yakuwa lya kitiibwa.   Eddoboozi lya Yakuwa limenya emiti gy’entolokyo. Yakuwa amenyaamenya emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni.+   Aleetera Lebanooni* okuligita ng’ennyana,Ne Siriyooni+ okuligita ng’ente ento ennume ey’omu nsiko.*   Eddoboozi lya Yakuwa limansula ennimi z’omuliro;+   Eddoboozi lya Yakuwa likankanya eddungu;+Yakuwa akankanya eddungu ly’e Kadesi.+   Eddoboozi lya Yakuwa likankanya empeewo ne zizaala,Era likunkumula ebikoola by’emiti gyonna egiri mu kibira.+ N’abo abali mu yeekaalu ye bonna bagamba nti: “Katonda aweebwe ekitiibwa!” 10  Yakuwa atudde ku ntebe ye waggulu w’amazzi aganjaala;*+Yakuwa atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka emirembe n’emirembe.+ 11  Yakuwa ajja kuwa abantu be amaanyi.+ Yakuwa ajja kuwa abantu be emirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Musinze.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’ekitiibwa ky’obutukuvu bwe.”
Kirabika ensozi za Lebanooni.
Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
Oba, “w’ennyanja ey’omu ggulu.”