Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 28:1-9

EBIRIMU

  • Essaala y’omuwandiisi wa zabbuli ewulirwa

    • “Yakuwa ge maanyi gange era ye ngabo yange” (7)

Zabbuli ya Dawudi. 28  Ggwe gwe nkoowoola, Ai Yakuwa Olwazi lwange;+Toziba matu go nga nkukoowoola. Bw’ononsiriikirira,Nja kuba ng’abo abakka mu kinnya.*+   Wulira okuwanjaga kwange nga nkusaba onnyambe,Nga nnyimusa emikono gyange eri ekisenge ekisingayo okuba munda mu kifo kyo ekitukuvu.+   Tonzigyaawo wamu n’ababi, wamu n’abo abakola ebirumya,+Abo aboogera ebigambo eby’emirembe ne bannaabwe, so nga mu mitima gyabwe mulimu bintu bibi.+   Basasule olw’ebikolwa byabwe,+Okusinziira ku bikolwa byabwe ebibi. Basasule olw’emirimu gy’emikono gyabwe,Okusinziira ku bye bakoze.+   Kubanga tebalowooza ku bikolwa bya Yakuwa,+Wadde ku mirimu gy’emikono gye.+ Ajja kubamenyaamenya era tajja kubazimba.   Yakuwa atenderezebwe,Kubanga awulidde okuwanjaga kwange.   Yakuwa ge maanyi gange+ era ye ngabo yange;+Omutima gwange gwesiga ye.+ Annyambye, era omutima gwange gujaguza,Nja kumuyimbira oluyimba lwange nga mmutendereza.   Yakuwa ge maanyi g’abantu be;Alinga ekigo, era alokola gwe yafukako amafuta.+   Lokola abantu bo era wa obusika bwo omukisa.+ Beera musumba waabwe era basitulire mu mikono gyo emirembe gyonna.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ntaana.”