Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 26:1-12

EBIRIMU

  • Okutambulira mu bugolokofu

    • “Nkebera Ai Yakuwa” (2)

    • Okwewala emikwano emibi (4, 5)

    • ‘Nja kwetooloola ekyoto kya Katonda’ (6)

Zabbuli ya Dawudi. 26  Nnamula Ai Yakuwa, kubanga ntambulidde mu bugolokofu bwange;+Nneesize Yakuwa awatali kuddirira.+   Nkebera Ai Yakuwa, era ngezesa;Longoosa ebirowoozo byange* n’omutima gwange.+   Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kubeera mu maaso gange bulijjo,Era ntambulira mu mazima go.+   Sibeera* na bantu balimba,+Era nneewala abo abakweka kye bali.*   Nkyawa ekibiina ky’abantu ababi,+Era sikkiriza kubeera* n’abo abakola ebibi.+   Nja kunaaba mu ngalo okulaga nti siriiko musango,Era nja kwetooloola ekyoto kyo, Ai Yakuwa,   Eddoboozi lyange ery’okwebaza liwulirwe,+Era nnangirire ebikolwa byo byonna eby’ekitalo.   Yakuwa, njagala nnyo ennyumba mw’obeera,+Ekifo ekitiibwa kyo mwe kibeera.+   Tonsaanyaawo wamu n’aboonoonyi,+Era obulamu bwange tobuzikiririza wamu n’abo abakola ebikolwa eby’obukambwe,* 10  Abo abalina emikono egikola ebintu ebiswaza,Era abalina omukono ogwa ddyo ogujjudde enguzi. 11  Naye nze nja kutambulira mu bugolokofu bwange. Nnunula era ndaga ekisa. 12  Ekigere kyange kiyimiridde awatereevu,+Nja kutendereza Yakuwa mu kibiina ekinene.*+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “enneewulira yange ey’omunda ennyo.” Obut., “ensigo zange.”
Obut., “Situula.”
Oba, “seegatta wamu n’abakuusa.”
Obut., “kutuula.”
Oba, “abayiwa omusaayi.”
Obut., “mu nkuŋŋaana ennene.”