Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 25:1-22

EBIRIMU

  • Okusaba okuweebwa obulagirizi n’okusonyiyibwa

    • “Njigiriza empenda zo” (4)

    • ‘Mikwano gya Yakuwa egy’oku lusegere’ (14)

    • “Nsonyiwa ebibi byange byonna” (18)

Zabbuli ya Dawudi. א [Alefu] 25  Ai Yakuwa, ggwe gwe nneeyuna. ב [Besu]   Katonda wange, nneesiga ggwe;+Tondeka kuswala.+ Toleka balabe bange kusanyukira nnaku yange.+ ג [Gimeri]   Mazima ddala tewali n’omu assa essuubi lye mu ggwe aliswala,+Naye abo abasala enkwe awatali nsonga baliswala.+ ד [Dalesi]   Mmanyisa amakubo go, Ai Yakuwa;+Njigiriza empenda zo.+ ה [Ke]   Nsobozesa okutambulira mu mazima go era njigiriza,+Kubanga ggwe Katonda ow’obulokozi bwange. ו [Wawu] Essuubi lyange liba mu ggwe okuzibya obudde. ז [Zayini]   Ai Yakuwa, jjukira okusaasira kwo n’okwagala kwo okutajjulukuka,+By’olaga bulijjo.*+ ח [Kesu]   Tojjukira bibi bya mu buvubuka bwange na byonoono byange. Nzijukira ng’okwagala kwo okutajjulukuka bwe kuli,+Olw’obulungi bwo, Ai Yakuwa.+ ט [Tesu]   Yakuwa mulungi era mutuukirivu.+ Eyo ye nsonga lwaki ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye balina okutambuliramu.+ י [Yodi]   Ajja kuluŋŋamya abawombeefu basobole okukola ekituufu,+Era ajja kuyigiriza abawombeefu amakubo ge.+ כ [Kafu] 10  Eri abo abakuuma endagaano ya Yakuwa+ era abakola by’abalagira,+Amakubo ge gonna ga kwagala okutajjulukuka era ga bwesigwa. ל [Lamedi] 11  Olw’erinnya lyo, Ai Yakuwa,+Nsonyiwa ensobi yange, wadde nga nnene nnyo. מ [Memu] 12  Ani atya Yakuwa?+ Ajja kumuyigiriza ekkubo ly’anaalonda.+ נ [Nuni] 13  Anaalabanga ebirungi,+Era bazzukulu be balitwala ensi n’eba yaabwe.+ ס [Sameki] 14  Abo abatya Yakuwa be baba mikwano gye egy’oku lusegere,+Era abamanyisa endagaano ye.+ ע [Ayini] 15  Amaaso gange gatunuulira Yakuwa bulijjo,+Kubanga ajja kuggya ebigere byange mu kitimba.+ פ [Pe] 16  Tunula gye ndi ondage ekisa,Kubanga ndi bw’omu era sirina bwe ndi. צ [Sade] 17  Ennaku y’omutima gwange yeeyongedde;+Nzigya mu bulumi bwe ndimu. ר [Lesu] 18  Laba ennaku yange n’ebizibu byange,+Era nsonyiwa ebibi byange byonna.+ 19  Laba abalabe bange bwe bali abangi,Era olw’obukyayi bwabwe obungi baagala okunkolako eby’obukambwe. ש [Sini] 20  Kuuma obulamu bwange era ndokola.+ Tondeka kuswala, kubanga nzirukidde gy’oli. ת [Tawu] 21  Obugolokofu n’obwesigwa ka binkuume,+Kubanga essuubi lyange liri mu ggwe.+ 22  Ai Katonda, nunula Isirayiri mu bizibu bye byonna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Ebibaddewo okuva edda n’edda.”