Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 24:1-10

EBIRIMU

  • Kabaka ow’ekitiibwa ayingira mu miryango

    • Yakuwa ye nnannyini nsi (1)

Zabbuli ya Dawudi. 24  Ensi ne byonna ebigiriko bya Yakuwa,+Ettaka n’abo abalibeerako.   Kubanga ye yagisimba ku nnyanja,+Era ye yaginyweza ku migga.   Ani ayinza okwambuka ku lusozi lwa Yakuwa,+Era ani ayinza okuyimirira mu kifo kye ekitukuvu?   Oyo ataliiko musango era alina omutima omulongoofu,+Oyo atalayiridde bulamu bwange* kirayiro kya bulimba,Wadde okulayira mu bukuusa.+   Ajja kufuna emikisa okuva eri Yakuwa+N’obutuukirivu* okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.+   Guno gwe mulembe gw’abo abamunoonya,Ogw’abo abaagala obalage ekisa, Ai Katonda wa Yakobo. (Seera)   Mmwe enzigi, muyimuse emitwe gyammwe;+Mmwe emiryango egy’edda, mweggule,*Kabaka ow’ekitiibwa ayingire!+   Kabaka ono ow’ekitiibwa y’ani? Ye Yakuwa ow’amaanyi era ow’obuyinza,+Ye Yakuwa ow’amaanyi mu lutalo.+   Mmwe enzigi,+ muyimuse emitwe gyammwe;Mmwe emiryango egy’edda, mweggule,Kabaka ow’ekitiibwa ayingire! 10  Kabaka ono ow’ekitiibwa y’ani? Yakuwa ow’eggye, ye Kabaka ow’ekitiibwa.+ (Seera)

Obugambo Obuli Wansi

Obulamu obwogerwako wano bwa Yakuwa.
Oba, “N’obwenkanya.”
Oba, “muyimuke.”