Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 20:1-9

EBIRIMU

  • Obulokozi bwa kabaka Katonda gwe yafukako amafuta

    • Abamu beesiga magaali na mbalaasi, “naye ffe tukoowoola linnya lya Yakuwa” (7)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 20  Yakuwa akuddemu ku lunaku olw’obuyinike. Erinnya lya Katonda wa Yakobo ka likukuume.+   Akuweereze obuyambi okuva mu kifo ekitukuvu,+Era akubeere okuva mu Sayuuni.+   Ajjukire ebiweebwayo byo byonna;Akkirize ekiweebwayo kyo ekyokebwa.* (Seera)   Akuwe omutima gwo bye gwagala,+Era awe enteekateeka zo zonna omukisa.   Tujja kwogerera waggulu n’essanyu olw’ebikolwa byo eby’obulokozi;+Tujja kuwanika bbendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.+ Yakuwa k’atuukirize byonna by’osaba.   Kaakano nkimanyi nti Yakuwa alokola gwe yafukako amafuta.+ Addamu okusaba kwe ng’ayima mu ggulu lye ettukuvuN’amulokola* mu ngeri ey’ekitalo n’omukono gwe ogwa ddyo.+   Abamu beesiga magaali, abalala mbalaasi,+Naye ffe tukoowoola linnya lya Yakuwa Katonda waffe.+   Beesittadde ne bagwa;Naye ffe tusituse ne tuddawo.+   Ai Yakuwa, lokola kabaka!+ Ajja kutuddamu ku lunaku lwe tunaamukoowoola atuyambe.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ekiweebwayo kyo ekyokebwa akitwale ng’ekisava.”
Oba, “N’amuwanguza.”