Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 17:1-15

EBIRIMU

  • Okusaba okuweebwa obukuumi

    • “Okebedde omutima gwange” (3)

    • “Mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo” (8)

Essaala ya Dawudi. 17  Ai Yakuwa, wulira nga nkusaba wabeewo obwenkanya;Ssaayo omwoyo nga nkuwanjagira;Wulira okusaba kwange okutaliimu bukuusa.+   Omusango gwange gusale mu bwenkanya;+Amaaso go ka galabe ekituufu.   Okebedde omutima gwange, onkebedde ekiro;+Onnongoosezza.+ Ojja kukiraba nti sirina kibi kye nteeseteese kukola,Akamwa kange tekoogedde bintu bibi.   Ku bikwata ku bikolwa by’abantu,Ng’ekigambo ky’akamwa ko bwe kiri, nneewala amakubo g’omunyazi.+   Ka ntambulire mu makubo go,Ebigere byange bireme kwesittala.+   Ai Katonda nkukoowoola, kubanga ojja kunziramu.+ Ntegera okutu.* Wulira ebigambo byange.+   Mu ngeri ey’ekitalo laga okwagala kwo okutajjulukuka,+Ai ggwe Omulokozi w’abo abaddukira ku mukono gwo ogwa ddyoOkuwona abo abakujeemera.   Nkuuma ng’emmunye y’eriiso lyo;+Nkweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.+   Mponya ababi abannumba,Abalabe bange abatanjagala abanneetooloola.+ 10  Emitima gyabwe gyaguba;*Emimwa gyabwe gyogeza malala; 11  Batukugira;+Batulabiriza nga baagala okutusuula. 12  Omulabe alinga empologoma egenda okuyuzaayuza omuyiggo gwayo,Alinga empologoma envubuka ebwamye ng’erina ky’eteeze. 13  Ai Yakuwa, situka omwaŋŋange+ omuwangule;Kozesa ekitala kyo omponye ababi; 14  Ai Yakuwa, kozesa omukono gwo onnunuleMu bantu b’omu nsi eno,* abalina omugabo mu bulamu buno,+Abo b’okkusa ebintu byo ebirungi,+Era abalekera abaana baabwe abangi eby’obusika. 15  Naye nze olw’okuba ndi mutuukirivu, nja kukulaba;Mba mumativu bwe nzuukuka ne nkulaba.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Kutama owulire.”
Oba, “Babikkiddwa amasavu gaabwe.”
Oba, “b’omu nteekateeka y’ebintu eno.”