Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 149:1-9

EBIRIMU

  • Oluyimba olutendereza Katonda olw’obuwanguzi bwe

    • Katonda asanyukira abantu be (4)

    • Ekitiibwa ky’abo abeesigwa eri Katonda (9)

149  Mutendereze Ya!* Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya;+Mumutenderereze mu kibiina ky’abeesigwa.+   Isirayiri k’ajagulize mu Oyo eyamukola;+Abaana ba Sayuuni ka basanyukire mu Kabaka waabwe.   Ka batendereze erinnya lye nga bazina,+Era bamuyimbire ennyimba ezimutendereza nga bakubirako obugoma n’entongooli.+   Kubanga Yakuwa asanyukira abantu be.+ Agulumiza abawombeefu ng’abalokola.+   Abeesigwa ka bajaganye olw’ekitiibwa ky’abawa;Ka baleekaane olw’essanyu nga bali ku bitanda byabwe.+   Ennyimba ezitendereza Katonda ka zibeere mu bulago bwabwe,N’ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi ka kibeere mu mukono gwabwe,   Okuwoolera eggwanga ku mawanga,N’okubonereza abantu,   Okusiba bakabaka baabwe empingu,N’abakungu baabwe enjegere,   Okutuukiriza omusango ogwabawandiikibwako.+ Ekitiibwa kino ky’abo bonna abeesigwa gy’ali. Mutendereze Ya!*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.