Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 145:1-21

EBIRIMU

 • Okutendereza Katonda, Kabaka omukulu

  • ‘Nja kulangirira obukulu bwa Katonda’ (6)

  • “Yakuwa mulungi eri bonna” (9)

  • “Abeesigwa gy’oli bajja kukutendereza” (10)

  • Obwakabaka bwa Katonda bwa mirembe na mirembe (13)

  • Omukono gwa Katonda gukkusa buli kiramu (16)

Okutendereza, zabbuli ya Dawudi. א [Alefu] 145  Nja kukugulumiza, Ai Katonda wange Kabaka,+Nja kutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe.+ ב [Besu]   Nja kukutenderezanga okuzibya obudde;+Nja kutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe.+ ג [Gimeri]   Yakuwa mukulu era y’agwanidde okutenderezebwa ennyo;+Obukulu bwe tebunoonyezeka.*+ ד [Dalesi]   Abantu ab’omu mirembe gyonna bajja kutendereza emirimu gyo;Bajja kwogera ku bikolwa byo eby’amaanyi.+ ה [Ke]   Bajja kwogera ku bulungi bw’ekitiibwa kyo,+Era nja kufumiitiriza ku mirimu gyo egy’ekitalo. ו [Wawu]   Bajja kwogera ku bikolwa byo ebiwuniikiriza,*Era nja kulangirira ebikolwa byo eby’ekitalo. ז [Zayini]   Ebigambo byabwe eby’okutendereza bijja kukulukuta ng’amazzi bwe banajjukiranga obulungi bwo obungi,+Bajja kwogereranga waggulu n’essanyu olw’obutuukirivu bwo.+ ח [Kesu]   Yakuwa wa kisa era musaasizi,+Alwawo okusunguwala era alina okwagala okutajjulukuka kungi.+ ט [Tesu]   Yakuwa mulungi eri bonna,+Era okusaasira kwe kweyolekera mu mirimu gye gyonna. י [Yodi] 10  Emirimu gyo gyonna gijja kukugulumiza, Ai Yakuwa,+Era abeesigwa gy’oli bajja kukutendereza.+ כ [Kafu] 11  Bajja kulangirira ekitiibwa ky’obwakabaka bwo,+Era bajja kwogera ku buyinza bwo,+ ל [Lamedi] 12  Bamanyise abantu ebikolwa byo eby’amaanyi+N’obulungi bw’ekitiibwa ky’obwakabaka bwo.+ מ [Memu] 13  Obwakabaka bwo bwa mirembe na mirembe,N’okufuga kwo kubeerawo mu mirembe gyonna.+ ס [Sameki] 14  Yakuwa awanirira abo bonna abagwa,+Era ayimusa abo abakutamye.+ ע [Ayini] 15  Amaaso g’ebitonde byonna ebiramu gakulindirira;Obiwa emmere yaabyo mu kiseera ekituufu.+ פ [Pe] 16  Oyanjuluza engalo zoN’owa buli kiramu bye kyagala.+ צ [Sade] 17  Yakuwa mutuukirivu mu makubo ge gonna+Era mwesigwa mu byonna by’akola.+ ק [Kofu] 18  Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola,+Abo bonna abamukoowoola mu mazima.*+ ר [Lesu] 19  Awa abo abamutya bye baagala;+Awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.+ ש [Sini] 20  Yakuwa akuuma abo bonna abamwagala,+Naye ababi bonna ajja kubazikiriza.+ ת [Tawu] 21  Akamwa kange kajja kulangirira ettendo lya Yakuwa;+Ebiramu byonna ka bitendereze erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “buzibu okutegeera.”
Oba, “maanyi go agawuniikiriza.”
Oba, “mu bwesimbu.”