Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 141:1-10

EBIRIMU

  • Asaba Katonda amukuume

    • “Okusaba kwange ka kube ng’obubaani” (2)

    • Okukangavvula omutuukirivu kw’awa kulinga amafuta (5)

    • Ababi bagwa mu bitimba byabwe (10)

Zabbuli ya Dawudi. 141  Ai Yakuwa, nkukoowoola.+ Yanguwa ojje onnyambe.+ Mpuliriza nga nkukoowoola.+   Okusaba kwange ka kube ng’obubaani+ obuteekeddwateekeddwa mu maaso go,+Emikono gyange egiyimusiddwa ka gibe ng’ekiweebwayo eky’akawungeezi eky’emmere ey’empeke.+   Ai Yakuwa, ssaawo omukuumi ku kamwa kange,Ssaawo omukuumi ku luggi lw’emimwa gyange.+   Tokkiriza mutima gwange kwagala kintu kyonna kibi+Okwegatta wamu n’ababi mu kukola ebintu ebibi;Ka nneme kulyanga ku mmere yaabwe ennungi.   Omutuukirivu bw’ankuba, kiba kikolwa ekyoleka okwagala okutajjulukuka;+Bw’annenya, kiba ng’amafuta agafukiddwa ku mutwe gwange,+Omutwe gwange ge gutayinza kugaana.+ Ne bwe banaaba bali mu buzibu nja kweyongera okusaba.   Abalamuzi b’abantu ne bwe basuulibwa okuva waggulu ku kagulungujjo,Abantu bajja kussaayo omwoyo eri ebigambo byange, kubanga bisanyusa.   Ng’omuntu bw’akabala ettaka n’alikubaakuba,N’amagumba gaffe bwe gatyo bwe gasaasaanyiziddwa ku mumwa gw’amagombe.*   Naye amaaso gange gatunuulira ggwe, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+ Nzirukidde gy’oli. Obulamu bwange tobuggyaawo.   Nkuuma nneme kugwa mu mutego gwe banteze,Nneme kugwa mu byambika by’ababi. 10  Ababi bajja kugwa mu bitimba byabwe,+Naye nze nja kuyitawo mirembe.

Obugambo Obuli Wansi